1 Samwiri 6:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo essanduuko ya Mukama bwe yali yakamala emyezi musanvu mu nsi yʼAbafirisuuti,

2 Abafirisuuti ne batumya bakabona nʼabafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya Mukama? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.”

3 Ne baddamu nti, “Bwe muba muzzaayo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olwʼomusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa Mukama kye yavudde ababonereza.”

4Abafirisuuti ne babuuza nti, “Kiki kye tunamuweereza okuba ekiweebwayo olwʼomusango?” Ne babaddamu nti, “Ebibumbe ebyʼebizimba ebya zaabu bitaano nʼebibumbe ebyʼemmese eza zaabu bitaano[10], ngʼomuwendo gwa bakulembeze bʼAbafirisuuti bwe guli. “Mwabonerezebwa mu ngeri yʼemu ngʼabakulembeze bammwe nʼensi yammwe.

5Noolwekyo mukole ebibumbe ebyʼebizimba nʼebyʼemmese ebireetedde ensi okusaanawo, muwe Katonda wa Isirayiri ekitiibwa; oboolyawo anaabasonyiwa, ne balubaale bammwe nʼensi yammwe.

6 Lwaki mukakanyaza emitima gyammwe ngʼAbamisiri ne Falaawo bwe baakola? Bwe yabamala[11] amaanyi, tebakkiriza Bayisirayiri kugenda era ne bagenda?

7 “Kale nno, muteeketeeke ekigaali ekipya, nʼente bbiri ezaakazaala, ezitateekebwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali, naye ennyana zaazo muziziggyeeko.

8Muddire essanduuko ya Mukama mugiteeke ku kigaali, ate muddire nʼekisanduuko mwe munaateeka ebintu ebya zaabu olwʼekiweebwayo olwʼekibi, mukiteeke ku mabbali gʼessanduuko ya Mukama. Mugisindike, egende yokka.

9 Naye mugitunuulire; bwʼeneekwata ekkubo erigenda ewaabayo mu nsi yaayo, e Besusemesi, olwo nga Mukama ye yatuleeseeko ekibonoobono kino ekinene. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo tunaategeera ngʼomukono gwe si gwe gutubaddeko, kyatutuukako butuusi.”

10Ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezaakazaala, ne baziggyako ennyana zaazo ne bazisiba ku kigaali.

11Ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali nʼekisanduuko ekyalimu emmese eza zaabu nʼebibumbe ebyʼebizimba okugiriraana.

12 Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze bʼAbafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo eyʼe Besusemesi.

13Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba.

14Ekigaali ne kituukira mu nnimiro ya Yoswa owʼe Besusemesi nʼekiyimirira omwo okumpi nʼawali ejjinja eddene. Abantu ne bayasa embaawo ezʼekigaali, ente ne baziwaayo ngʼekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

15Abaleevi[12] ne batwala essanduuko ya Mukama, nʼekisanduuko ekyalimu ebibumbe ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Awo ku lunaku olwo abantu bʼe Besusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka eri Mukama.

16 Abakulembeze abataano abʼAbafirisuuti olwalaba ebyo, ne baddayo mu Ekuloni ku lunaku olwo.

17Ebibumbe ebyʼebizimba ebya zaabu Abafirisuuti bye baaweereza ngʼekiweebwayo olwʼomusango eri Mukama byali: ekimu kya Asudodi, nʼekirala kya Gaza, nʼekirala kya Asukulooni, nʼekirala kya Gaasi, nʼekirala kya Ekuloni;

18era nʼebibumbe ebyʼemmese eza zaabu bwe byali, ngʼebibuga byonna ebyʼAbafirisuuti ebyali ebyʼAbakungu abataano, ate nga bibuga ebiriko enkomera nʼebyalo byabyo. Ejjinja eddene kwe baateeka essanduuko ya Mukama mu nnimiro ya Yoswa owʼe Besusemesi, ne libeera kijjukizo nʼokutuusa leero.

19 Naye nsanvu ku basajja abʼe Besusemesi ne bafa kubanga balingiza mu ssanduuko ya Mukama. Abantu ne banakuwala nnyo olwʼekibonerezo ekinene Mukama kye yabawa,

20 era abantu bʼe Besusemesi ne beebuuza nti, “Ani ayinza okuyimirira mu maaso ga Mukama, Katonda ono omutukuvu? Essanduuko ya Mukama tugiweereze ani?”

21 Ne batuma ababaka eri abatuuze bʼe Kiriyasuyalimu nʼobubaka nti, “Abafirisuuti bakomezzaawo essanduuko ya Mukama. Muserengete, mujje mugiddukire mugitwale ewammwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>