1ⓟ Awo abantu bʼe Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama[13].
2Essanduuko nʼemala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu bʼennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama.
3ⓠ Awo Samwiri nʼagamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama nʼomutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gwʼAbafirisuuti.”
4ⓡ Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.
5Samwiri nʼayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.”
6ⓢ Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.
7Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi bʼAbafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
8ⓣ Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gwʼAbafirisuuti.”
9ⓤ Awo Samwiri nʼaddira omwana gwʼendiga oguyonka nʼaguwaayo ngʼekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, nʼakaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama nʼamuddamu.
10Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ngʼawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama nʼabwatuka okubwatuka okwʼamaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri.
11Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.
12ⓥ Awo Samwiri nʼaddira ejjinja nʼaliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo nʼakituuma Ebenezeri[14], ngʼagamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.”
13ⓦ Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti.
14Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri nʼanunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bwʼAbafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri nʼAbamoli[15].
15Samwiri nʼalamula era nʼafuga Isirayiri ennaku zonna ezʼobulamu bwe.
16Buli mwaka nʼagendanga e Beseri, nʼe Girugaali nʼe Mizupa[16] mu mpalo ngʼalamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna.
17ⓧ Nʼoluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo nʼalamulirayo Isirayiri. Nʼazimbirayo Mukama ekyoto.