1
2Erinnya lya mutabani we omukulu ye yali Yoweeri, nʼowokubiri nga ye Abiya, ne balamulanga mu Beeruseba.
3
4Awo abakadde bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama,
5
6Naye bwe baayogera nti, “Tuwe kabaka anaatukulemberanga,” ne kitasanyusa Samwiri. Samwiri nʼasaba eri Mukama.
7
8Okusinziira ku bikolwa byabwe okuva ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri okutuusa ku lunaku lwa leero, bwe banjeemera, ne baweereza bakatonda abalala, nawe bwe batyo bwe bakuyisa.
9Kaakano bawulirize, naye obalabulire ddala, era obategeeze ebintu byonna kabaka anaabafuga byʼalibakola.”
10Awo Samwiri nʼategeeza abantu abaali bamusaba kabaka, ebigambo byonna Mukama bye yamugamba.
11
12Abamu ku bo alibafuula abaduumizi bʼenkumi, nʼabalala nʼabafuula abaduumizi bʼataano, nʼabalala okumulimiranga ennimiro ze nʼokuzikungulanga, nʼabalala okuweesanga ebyokulwanyisa nʼebintu ebyʼamagaali ge.
13Alitwala bawala bammwe, okumuteekerateekera ebyakaloosa, nʼokumufumbiranga, nʼokumukoleranga emigaati.
14
15Alitwala ekimu ekyʼekkumi ekyʼemmere yammwe eyʼempeke, nʼekyʼennimiro zammwe ezʼemizabbibu, nʼakigabira abakungu be nʼabaweereza be.
16Alitwala abaweereza bammwe abasajja nʼabaweereza bammwe abakazi, nʼabavubuka bammwe abasinga obulungi nʼendogoyi, nʼabyeddiza.
17Alitwala ekimu ekyʼekkumi ku bisibo byammwe, mmwe nʼabafuula abaweereza be.
18
19
20naffe tubeere ngʼamawanga amalala gonna, nga tulina kabaka atufuga ayinza okutukulembera nʼatulwanira entalo zaffe.”
21Awo Samwiri bwe yawulira ebigambo byonna ebyʼabantu, nʼabiddiramu Mukama.
22