1
2Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.
3Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi nʼagamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.”
4
5Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo nʼagamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku bʼendogoyi, nʼatandika okweraliikirira ffe.”
6Naye omuweereza nʼamuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli kyʼayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.”
7
8Omuweereza nʼaddamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.”
9
10Sawulo nʼamuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali.
11
12
13Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira
14Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ngʼajja gye bali, ngʼayolekedde ekifo ekigulumivu.
15Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ngʼagamba nti,
16
17Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama nʼamugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo yʼajja okufuga abantu bange.”
18Sawulo nʼasemberera Samwiri mu mulyango, nʼamubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba yʼomulabi wʼeri?”
19Samwiri nʼamuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo.
20Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kwʼani, bwe kutaabe ku ggwe nʼennyumba ya kitaawo yonna?”
21Sawulo nʼaddamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga nʼennyumba yaffe yʼesingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ezʼekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ngʼebyo?”
22Awo Samwiri nʼatwala Sawulo nʼomuweereza we mu kisenge ekinene, nʼabatuuza mu bifo ebyʼoku mwanjo mu maaso gʼabo bonna abaayitibwa abaali bawera ngʼamakumi asatu.
23Samwiri nʼagamba omufumbi nti, “Leeta ekifi kyʼennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”
24
25
26Awo enkeera Samwiri nʼagolokoka mu makya nʼakoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga.
27Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri nʼagamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”