1 Timoseewo 1:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira,

2nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa nʼokusaasira, nʼemirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.

3Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala.

4Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ezʼamannya gʼabajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo kyʼokuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza.

5Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, nʼomwoyo omulungi, nʼokukkiriza okutaliimu bukuusa.

6Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso.

7Beefuula bayigiriza bʼamateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.

8Tumanyi ngʼamateeka malungi, omuntu bwʼagakozesa mu ngeri entuufu.

9Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, nʼabatatya Katonda, nʼabatali batukuvu, nʼabagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era nʼabatta abantu abalala,

10nʼabenzi, nʼabalya ebisiyaga, abagula nʼabatunda abaddu, abalimba nʼabalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,

11ngʼEnjiri eyʼekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bwʼeri.

12Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi agʼokumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, nʼankwasa omulimu gwe.

13Newaakubadde ngʼedda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza.

14Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nʼampa okukkiriza kungi, era nʼokwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu.

15Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala.

16Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo.

17Kabaka owʼolubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe nʼemirembe. Amiina.

18Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo nʼobuzira,

19ngʼokukkiriza, nʼomwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba nʼomwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe.

20Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be nʼawaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>