1Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lwʼabantu bonna.
2Era musabirenga bakabaka nʼabafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
3Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe,
4ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima.
5Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya wʼabantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu,
6eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.
7Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza wʼAbamawanga, mbategeeze ebyʼokukkiriza nʼebyʼamazima; njogera bituufu sirimba.
8Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
9Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu nʼamayinja agʼomuwendo, wadde okwambala engoye ezʼomuwendo ennyo.
10Wabula babe nʼebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
11Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese.
12Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba nʼobuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga.
13Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa.
14Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, nʼagwa mu kibi.
15Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bwʼananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.