1 Timoseewo 3:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bwʼayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi.

2Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ngʼamanyi okuyigiriza.

3Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi.

4Ateekwa kuba ngʼafuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa.

5Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?

6Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, nʼasalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa.

7Asaanira okuba ngʼassibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si ku lwa nga yeereetako ekivume.

8Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu,

9nga bakuuma ekyama kyʼokukkiriza nʼomutima omulongoofu.

10Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa.

11Nʼabakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.

12Omudiikoni ateekwa okuba nʼomukazi omu yekka, era ngʼasobola okufuga obulungi abaana be, nʼamaka ge.

13Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba nʼobuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.

14Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gyʼoli mangu;

15kyokka bwe ndirwa omanye byʼosaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi nʼomusingi ebyʼamazima.

16Tewali kubuusabuusa ekyama kyʼokutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:

16“Yalabisibwa mu mubiri, nʼakakasibwa Omwoyo nga bwʼatuukiridde, nʼalabibwa bamalayika, nʼalangibwa mu mawanga, nʼakkirizibwa mu nsi, era nʼatwalibwa nʼekitiibwa mu ggulu.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>