1 Timoseewo 4:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti Mu nnaku ezʼoluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, nʼenjigiriza ya baddayimooni,

2nga bawubisibwa obukuusa bwʼabantu abalimba, abʼemitima egiri ngʼegyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde.

3Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.

4Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza,

5kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, nʼokukisabira.

6Bwʼonootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ngʼoliisibwa nʼebigambo ebyʼokukkiriza, nʼenjigiriza ennungi gye wagoberera.

7Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda.

8Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi eryʼomu bulamu buno era nʼeryʼobwo obugenda okujja.

9Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala.

10Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi wʼabantu bonna, na ddala abakkiriza.

11Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga.

12Waleme kubaawo muntu nʼomu akunyooma olwʼobuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.

13Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu nʼokubuuliriranga, nʼokuyigiriza okutuusa lwe ndijja.

14Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.

15Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi.

16Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu byʼoyigiriza era obinywerereko. Bwʼonookola bwʼotyo olyerokola ggwe wennyini, era nʼabo abakuwulira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>