1Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo,
2abakazi abakadde bayisenga ngʼabazadde bo, abato nga bannyoko, ngʼomutima gwo mulongoofu ddala.
3Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa.
4Nnamwandu bwʼabanga nʼabaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era nʼokubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda.
5Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira nʼokusaba Katonda emisana nʼekiro.
6Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ngʼafudde, newaakubadde ngʼakyali mulamu.
7Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa.
8Naye omuntu yenna bwʼatalabirira bantu be, na ddala abʼomu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
9Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu,
10nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
11Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa,
12bwe batyo ne bessaako omusango olwʼobutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza.
13Nʼekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera nʼebitasaana.
14Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi.
15Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.
16Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu abʼolulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.
17Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira nʼokuyigiriza ekigambo kya Katonda.
18
19Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu.
20Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye.
21Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.
22Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi byʼabalala; weekuumenga ngʼoli mulongoofu.
23Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olwʼolubuto lwo, nʼolwʼokulwalalwala kwo.
24Ebibi byʼabantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye ebyʼabalala birabika luvannyuma.
25Nʼebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.