1Abo bonna abali mu kikoligo kyʼobuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu nʼokuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa.
2Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olwʼokuweereza kwabwe okulungi. Ebyo bibayigirizenga era obibakuutirenga.
3Omuntu yenna bwʼayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu nʼokugobereranga enjigiriza eyʼokutya Katonda,
4aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko kyʼategeera naye aba aguddemu akazoole akʼokubuzaabuza mu buli kintu, nʼokuwakana ku buli kigambo nʼekivaamu bwe buggya, nʼokuyomba, nʼokuvuma, nʼokuwaayira,
5nʼokukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ngʼokufuna amagoba kwe kutya Katonda.
6Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bwʼamalibwa mu ekyo kyʼalina.
7Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu.
8Naye bwe tuba nʼemmere, nʼebyokwambala ebyo bitumalenga.
9Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego akʼokwegomba okwʼobusirusiru era okwʼakabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira.
10Kubanga okululunkanira ensimbi yʼensibuko yʼebibi byonna, era olwʼokululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
11Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, nʼokutya Katonda, nʼokukkiriza, nʼokwagala, nʼokugumiikiriza, nʼobuwombeefu.
12Lwananga okulwana okulungi okwʼokukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, nʼoyatula okwatula okulungi mu maaso gʼabajulirwa abangi.
13Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato,
14okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde ekyʼokunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo,
15kwʼaliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama,
16ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali nʼomu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, nʼobuyinza obutaggwaawo, Amiina.
17Okuutirenga abagagga abʼomu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olwʼokwesanyusanga,
18bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana nʼabalala.
19Bwe batyo beeterekere obugagga obwʼengeri eyo nga gwe musingi omulungi ogwʼebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.
20Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, nʼempaka ezʼebigambo ebiyitibwa ebyʼamagezi naye nga bya bulimba,
21abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe.