1 Yokaana 1:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Tubawandiikira ku Kigambo owʼobulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba nʼamaaso gaffe, era gwe twakwatako nʼengalo zaffe.

2Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli.

3Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu nʼOmwana we Yesu Kristo.

4Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

5Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gyʼali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza nʼakatono.

6Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima.

7Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bwʼali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, nʼomusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.

8Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era nʼamazima tegaba mu ffe.

9Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa nʼokutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

10Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga nʼekigambo kye tekiri mu ffe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>