1 Yokaana 2:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bwʼakolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu.

2Ye, ye mutango olwʼebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lwʼebibi byʼabantu bonna.

3Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera.

4Kyokka oyo agamba nti amutegeera nʼatakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima.

5Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ngʼokwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye.

6Oyo agamba nti Ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

7Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye.

8Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogwʼamazima kaakano gwaka.

9Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate nʼakyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza.

10Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza.

11Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mwʼatambulira, nga tategeera gyʼalaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

12Baana bange abaagalwa, mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olwʼerinnya lye.

13Era nammwe abakulu, mbawandiikidde kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye. Nammwe abavubuka, mbawandiikidde kubanga muwangudde omubi. Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde, kubanga mutegedde Kitaffe.

14Mbawandiikidde mmwe abakulu kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka kubanga muli ba maanyi era nʼekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.

15Temwagalanga nsi, wadde ebyʼensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.

16Kubanga buli ekyʼensi: okwegomba kwʼomubiri, nʼokwegomba kwʼamaaso, nʼokwekuluntaza okwʼobulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.

17Ensi nʼokwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda byʼayagala abeerera emirembe gyonna.

18Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ngʼOmulabe wa Kristo bwʼagenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ngʼekiseera ekisembayo kituuse.

19Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si bʼewaffe.

20Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna.

21Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula ebyʼobulimba nʼebyʼamazima.

22Omulimba yʼani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana.

23Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.

24Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe.

25Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.

26Mbawandiikidde bino olwʼokubanga waliwo abo ababalimbalimba.

27Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gyʼali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu yʼabayigiriza buli kimu, era wʼamazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

28Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bwʼalirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lwʼaliddirako.

29Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola ebyʼobutuukirivu ye mwana we.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>