1 Yokaana 3:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Mulabe okwagala Katonda kwʼatwagala bwe kuli okunene ennyo, nʼatuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

2Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bwʼalirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bwʼali.

3Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bwʼali omutukuvu.

4Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu.

5Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi.

6Era tewali nʼomu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi nʼakatono.

7Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu nʼomu; Buli akola ebyʼobutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bwʼali omutuukirivu,

8naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.

9Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.

10Ku kino abaana ba Katonda nʼaba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

11Kubanga buno bwe bubaka bwe twawulira okuva ku lubereberye nti twagalanenga,

12si nga Kayini eyali owa Setaani, nʼatta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola ebyʼobutuukirivu.

13Abooluganda, ensi bwe bakyawanga, temwewuunyanga.

14Kubanga ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala abooluganda, naye buli muntu atalina kwagala akyali mu kufa.

15Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye.

16Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olwʼabooluganda.

17Buli alina ebintu ebyʼomu nsi nʼalaba muganda we nga yeetaaga, naye nʼabulwako kyʼamuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?

18Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

19Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge.

20Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna.

21Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda.

22Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.

23Era kino kyʼatulagira nti, tukkiririze mu linnya lyʼOmwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira.

24Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ngʼali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>