1Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe wʼomwana ayagala nʼomwana we.
2Ku ekyo kwe tutegeerera nga twagala abaana ba Katonda, bwe twagala Katonda ne tukola byʼatulagira.
3Kubanga okwagala kwa Katonda kwe kukola ebyo byʼatulagira okukola. Okukola byʼatulagira si kizibu,
4kubanga buli mwana wa Katonda awangula ekibi nʼokwegomba ensi, era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe.
5Naye ani ayinza okuwangula ensi okuggyako oyo akkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda?
6Yesu Kristo oyo yennyini ye yajja nʼamazzi nʼomusaayi, si na mazzi, naye nʼamazzi nʼomusaayi. Era ne Mwoyo ekyo akikakasa kubanga Mwoyo ye mazima.
7Waliwo okukakasa kwa mirundi esatu:
8Mwoyo Mutukuvu, nʼamazzi, nʼOmusaayi, era ebisatu ebyo bikkiriziganya.
9Obanga tukkiriza obujulirwa bwʼabantu, obujulirwa bwa Katonda tusaana okubukkiriza ennyo nʼokusingawo, kubanga bwe businga obukulu ngʼategeeza ku Mwana we.
10Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ngʼamufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda kyʼayogera ku Mwana we.
11Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.”
12Buli alina Omwana alina obulamu, naye oyo atalina Mwana wa Katonda talina bulamu.
13Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya lyʼOmwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti Mulina obulamu obutaggwaawo.
14Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gyʼali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bwʼasiima atuwulira.
15Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
16Omuntu yenna bwʼalaba muganda we ngʼagudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa.
17Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.
18Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani nʼatamukola kabi.
19Tumanyi nga tuli ba Katonda, nʼensi yonna eri mu mikono gya Setaani.
20Era tumanyi ngʼOmwana wa Katonda yajja mu nsi, nʼatuwa okutegeera tumanye Katonda owʼamazima, era tuli mu oyo Katonda owʼamazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda owʼamazima nʼobulamu obutaggwaawo.
21Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.