1Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olwʼokusiima kwa Katonda, nʼowooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu nʼabatukuvu bonna abali mu Akaya yonna,
2ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
3Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe owʼokusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe,
4atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olwʼokugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.
5Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bwʼatyo bwʼatuzzaamu amaanyi.
6Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu.
7Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.
8Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde nʼessuubi eryʼokuba abalamu ne lituggwaamu.
9Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu,
10eyatuwonya mu kufa okwo okwʼentiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi eryʼokutuwonyanga.
11Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olwʼekirabo kye twaweebwa.
12Tulina okwenyumiriza ngʼomwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi agʼomubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi nʼokusingira ddala gye muli.
13Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero,
14era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli ekyʼokwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
15Olwʼokwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri,
16nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate nʼamadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya.
17Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18Naye nga Katonda bwʼali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo.
19Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano
20Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe.
21Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda,
22era ye oyo eyatussaako akabonero, nʼatuwa amazima gʼomwoyo mu mitima gyaffe.
23Katonda oyo ye mujulirwa wʼemmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso.
24Temusaanye kulowooza nti Ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.