2 Abakkolinso 10:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu nʼobukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli;

2mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri.

3Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ngʼabʼomubiri,

4kubanga ebyokulwanyisa byaffe ebyʼolutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olwʼokuwangula ebigo, nʼolwʼokuwangula endowooza,

5na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo,

6era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.

7Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bwʼalowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye.

8Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olwʼobuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olwʼokubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi,

9nneme kufaanana ngʼabatiisa mu bbaluwa zange.

10Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era zʼamaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, nʼokwogera kwe kunyoomebwa.”

11Alowooza bwʼatyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.

12Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya nʼabamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera.

13Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ngʼekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola nʼokubatuukako mmwe.

14Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo,

15nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ngʼokukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, nʼomulimu gwaffe gugenda gweyongera,

16era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu ekyʼomulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza.

17Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe;

18kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gwʼatenda.

e>