1Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newaakubadde nga tekugasa. Naye ka njogere ku kwolesebwa nʼokubikkulirwa kwa Mukama waffe.
2Waliwo omusajja wa Kristo gwe mmanyi, emyaka kkumi nʼena egiyise yatwalibwa mu ggulu eryokusatu. Naye oba yatwalibwa ngʼali mu mubiri, oba nga tali mu mubiri, nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi.
3Era mmanyi ngʼomuntu oyo, oba mu mubiri oba ngʼaggiddwa mu mubiri nange simanyi, wabula Katonda ye amanyi,
4nga yatwalibwa mu nnimiro lwa Katonda nʼawulira ebintu bingi ebyʼekyewuunyo omuntu byʼatakkirizibwa kwatula.
5Ku bwʼomuntu oyo nzija kwenyumiriza naye ku bwange siryenyumiriza, okuggyako mu bunafu bwange.
6Naye ne bwe nandiyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru kubanga nandibadde njogera mazima, naye saagala muntu yenna andowoozeeko nti Ndi wa waggulu nnyo okusinga we yandintadde ngʼasinziira ku ebyo byʼandabamu oba byʼampulirako,
7okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olwʼobutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.
8Emirundi esatu egyʼenjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo.
9Buli mulundi ngʼaŋŋamba nti,
10Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.
11Naye mwampaliriza okufuuka omusirusiru. Noolwekyo mmwe musaana okunjogerako kubanga abatume abakulu abawagulu tebalina na kimu kye bansinza, newaakubadde nga nze siri kintu.
12Ekyʼamazima obubonero obwʼomutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa ebyʼamaanyi.
13Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingira, wabula nze kennyini obutabazitoowereranga. Munsonyiwe ekyonoono ekyo.
14Laba guno mulundi gwakusatu nga nneeteeseteese okujja gye muli, era sijja kubazitoowerera, kubanga ebyammwe si bye njagala, wabula njagala mmwe. Nʼekirala, mmwe muli baana bange; abaana si be baterekera bazadde baabwe ebyʼobugagga, wabula abazadde be baterekera abaana baabwe.
15Naye nzija kusanyuka nnyo okwewaayo gye muli, nze ne byonna bye nnina olwʼemyoyo gyammwe, newaakubadde nga nze gye nkoma okubaagala ennyo, ate mmwe okwagala kwammwe gye ndi gye kukoma okukendeera.
16Naye mukkirize nti ssabazitoowerera; naye ne ngerengetanya ne mbatega mu lukwe.
17Mu abo be nabatumira, ani gwe nakozesa okubafunamu amagoba?
18Nakuutira Tito okujja, ne ntuma nʼowooluganda omulala awamu naye; Tito yeeyabafunako amagoba? Tetwatambulira mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?
19Obwʼedda mwalowooza nga mwetoowaza mu maaso ga Katonda. Naye abaagalwa ebintu byonna tubyogerera mu Kristo olwʼokubazimba.
20Kubanga kye ntya oboolyawo kwe kubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; oboolyawo nga waliwo okuyomba, nʼobuggya, nʼobusungu, nʼokwawukana, nʼokugeyaŋŋana, nʼolugambo, nʼokwekuluntaza, nʼokutabukatabuka;
21bwe ndijja nate, Katonda wange aleme kuntoowaza mu maaso gammwe, ne nkaabira abo bonna abaayonoona edda, ne bateenenya obutali bulongoofu, nʼobwenzi, nʼobugwagwa bye baakola.