1Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza.
2Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza?
3Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna.
4Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi nʼokunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.
5Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si ku lwa nga mbazitoowerera mwenna.
6Omuntu ngʼoyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kimumala;
7kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa nʼokumuzzaamu amaanyi si ku lwa ngʼennaku emuyitirirako nʼemuyinga obungi.
8Noolwekyo mbakuutira okwongera okumukakasa nti mumwagala.
9Kyennava mbawandiikira ndyoke ntegeere obanga muli bawulize mu nsonga zonna.
10Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo.
11Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.
12Bwe natuuka mu Tulowa olwʼenjiri ya Kristo, Mukama nʼanzigulirawo oluggi,
13saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.
14Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, nʼakawoowo akʼokumanya, ke tubunyisa wonna.
15Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa.
16Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola?
17Tetuli ngʼabangi abakozesa ekigambo kya Katonda olwʼokwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.