1Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ezʼokutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ngʼabalala?
2Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna,
3ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande ebyʼamayinja naye ku bipande byʼemitima egyʼomubiri.
4Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo.
5Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda,
6oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza bʼendagaano empya etali ya nnukuta wabula eyʼomwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.
7Kale obanga obuweereza bwʼamateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa nʼekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olwʼekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako,
8kale obuweereza obwʼomwoyo tebulisinga nnyo okuba obwʼekitiibwa?
9Kuba obanga obuweereza bwʼokusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bwʼobutuukirivu businga nnyo ekitiibwa.
10Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino.
11Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja nʼekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.
12Olwʼokuba nʼessuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza nʼobuvumu bungi,
13so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako.
14Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga nʼokutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo.
15Naye nʼokutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka.
16Naye buli muntu akyuka nʼadda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo.
17Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama wʼabeera, wabaawo eddembe.
18Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ngʼendabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.