2 Abakkolinso 4:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olwʼokusaasirwa, tuleme kuddirira.

2Twaleka ebikisibwa ebyʼensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza yʼomuntu mu maaso ga Katonda.

3Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula.

4Katonda wʼemirembe gino yazibikira ebirowoozo byʼabo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri eyʼekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda.

5Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu.

6Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala ekyʼokumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

7Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya ebyʼebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe.

8Tunyigirizibwa erudda nʼerudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika.

9Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka,

10nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe.

11Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe.

12Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

13Bwe tuba nʼomwoyo omu owʼokukkiriza, ngʼekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera.

14Tumanyi ngʼoyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe.

15Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, nʼokwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda nʼagulumizibwa.

16Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ngʼemibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe owʼomunda adda buggya bulijjo.

17Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okwʼekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa ekyʼamaanyi ekyʼemirembe nʼemirembe.

18Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

>