2 Abakkolinso 6:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Ffe ngʼabakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere.

2Kubanga agamba nti, Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olwʼobulokozi.

2“Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olwʼobulokozi.”

3Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa,

4naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okwʼokubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa,

5ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba,

6ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa,

7ne mu kigambo ekyʼamazima, ne mu maanyi ga Katonda olwʼebyokulwanyisa ebyʼobutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo nʼogwa kkono,

8wakati mu kitiibwa nʼokunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima.

9Ensi etusussa amaaso nga bʼetemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ngʼabaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa,

10nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ngʼabaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ngʼabatalina kintu naye ate nga tulina byonna.

11Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, nʼomutima gwaffe gugaziye.

12Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna.

13Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde nʼabaana, temutwekwekerera.

14Temwegattanga wamu nʼabatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati wʼobutuukirivu nʼobujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati wʼekitangaala nʼekizikiza?

15Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gwʼalina nʼatali mukkiriza?

16Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”

17“Noolwekyo muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bwʼayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.”

18“Nʼabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,”

18bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna.

>