2 Abakkolinso 8:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa zʼe Makedoniya.

2Mu kugezesebwa okwʼokubonaabona, baagattika essanyu lyabwe eryʼekitalo nʼobwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo.

3Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira.

4Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu.

5Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, nʼoluvannyuma gye tuli olwʼokwagala kwa Katonda.

6Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize nʼekikolwa ekyo ekyʼekisa.

7Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.

8Sibawa kiragiro, wabula olwʼokunyiikira kwʼabalala nʼokugezesa okwagala kwammwe nga kwʼamazima.

9Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.

10Amagezi ge mbawa ge gano nti Mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako.

11Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kwʼekyo kye mulina,

12Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bwʼalina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo kyʼalina so si kyʼatalina.

13Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana.

14Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga.

15 Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, nʼeyakuŋŋaanyanga entono ngʼemumala bumazi.”

16Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe.

17Olwʼokuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, nʼolwʼokufuba kwe, yajja gye muli.

18Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olwʼenjiri mu kkanisa zonna,

19naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olwʼekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini nʼolwʼokugulumiza nʼokulaga nga bwe twetegese okuyamba,

20nga twewala omuntu yenna okutunenya olwʼekirabo kino kye tuweereza.

21Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso gʼabantu.

22Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olwʼobwesige bwʼabalinamu.

23Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olwʼekitiibwa kya Kristo.

24Noolwekyo okwagala kwammwe nʼokwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.

>