1Mmanyi bulungi nga tekinneetaagisa kubawandiikira ku nsonga yʼokuweereza abatukuvu;
2kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti abʼomu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi.
3Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba.
4Si ku lwa ngʼabʼe Makedoniya bajja nange ne babasanga nga temwetegese, ne tuswala, ne bwe tutaboogerako nti ye mmwe, mu kubeesiga mmwe.
5Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okubagumya abooluganda, bano babasookeyo, bateeketeeke ekirabo kye mwasuubiza, ekirabo ekyo kitegekebwe kibeere omukisa so si ekintu ekyʼokuwalirizibwa.
6Naye mujjukire nti, “Asiga ekitono alikungula kitono, naye asiga ekinene alikungula kinene.”
7Buli omu akola nga bwʼasazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olwʼokuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba nʼessanyu.
8Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga nʼebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,
9nga bwe kyawandiikibwa nti,
10Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate nʼamuwa nʼemmere eyʼokulya, anaayazanga ensigo yammwe era nʼagyongerako, era anaayongeranga ebibala ebyʼobutuukirivu.
11Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
12Kubanga omulimu gwʼobuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda.
13Olwʼobukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olwʼokugonda okwʼokwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, nʼeri abantu bonna,
14era nʼokubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olwʼekisa kya Katonda ekyʼekitalo kye mulina;
15Katonda yeebazibwe olwʼekirabo ekitayogerekeka.