1Nze Pawulo ne Sirwano
2ekisa nʼemirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
3Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu nʼokwagalana kwammwe mwekka na mwekka,
4ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olwʼokugumiikiriza kwammwe nʼokukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu nʼokubonaabona bye mugumiikiriza.
5Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera,
6ate ngʼabo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde.
7Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bwʼaliva mu ggulu, ne bamalayika be abʼamaanyi,
8mu muliro ogwaka, nʼabonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu.
9Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe nʼemirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, nʼekitiibwa kyʼamaanyi ge.
10Bwʼalijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.
11Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogwʼokukkiriza mu maanyi,
12erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ngʼekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.