2 Basessaloniika 2:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Kaakano abooluganda, ku byʼokukomawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo, era nʼokukuŋŋaanyizibwa okumusisinkana, tubasaba

2muleme okweraliikirira wadde emitima okubeewanika newaakubadde olwʼomwoyo, newaakubadde olwʼekigambo wadde olwʼebbaluwa, ebirabika ngʼebivudde gye tuli, nga biranga nti olunaku lwa Mukama lutuuse.

3Omuntu yenna tabalimbalimbanga mu ngeri yonna; kubanga okuggyako ngʼobujeemu busoose okujja, nʼomuntu oli owʼobujeemu, omwana wʼokuzikirira ngʼamaze okulabisibwa,

4oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.

5Temujjukira ngʼebyo nabibategeeza bwe nnali nammwe?

6Era ekikyamuziyizza mukimanyi kubanga tagenda kujja okutuusa ngʼekiseera kye kituuse.

7Kubanga ekyama kyʼobujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lwʼaliva mu kkubo.

8Olwo omuntu owʼobujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gwʼalimalawo nʼomukka ogwʼomu kamwa ke nʼamuzikiriza nʼokulabisibwa kwʼokujja kwe.

9Omuntu oyo alijjira mu maanyi ga Setaani gonna nʼakola obubonero nʼebyʼamagero, ebyʼobulimba,

10era nʼobulimba obwa buli ngeri obwʼobutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa.

11Katonda kyava abawaayo eri okubuzibwabuzibwa okwʼamaanyi bakkirize ebyʼobulimba.

12Era bonna balyoke basalirwe omusango olwʼokukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.

13Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ngʼabatukuza olwʼokukola kwʼOmwoyo nʼokukkiriza amazima,

14ge yabayitira ngʼayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.

15Noolwekyo abooluganda, munywererenga ku ebyo bye twabayigiriza mu bbaluwa zaffe oba mu bigambo byaffe.

16Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala nʼatuwa essanyu nʼessuubi eddungi olwʼekisa kye,

17abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.

cle>