1Abooluganda, ekyʼenkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bwʼagulumizibwa mu mmwe,
2tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi bʼebibi, kubanga si bonna abakkiriza.
3Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani.
4Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo.
5Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, nʼobugumiikiriza obuva eri Kristo.
6Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo.
7Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ngʼekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde,
8tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana nʼekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu nʼomu ku mmwe.
9Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga.
10Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti Omuntu yenna bwʼagaananga okukola emirimu, nʼokulya talyanga.
11Kyokka tuwulira nti Mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo.
12Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu nʼobunyiikivu nʼobuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde.
13Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.
14Era omuntu yenna bwʼatagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
15So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ngʼowooluganda eyetaaga okulabulwa.
16Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.
17Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero zʼebbaluwa zange zonna okulaga nti Zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.
18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.