1Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku nʼawandiika amabaluwa nʼagaweereza e Samaliya
2“Amangwago ngʼebbaluwa eno ebatuuseeko, ngʼabaana ba mukama wammwe bwe bali nammwe, ate nga mulina amagaali nʼembalaasi, era nʼekibuga kiriko enkomera nʼebyokulwanyisa,
3mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ngʼasaanira, mumuteeke ku ntebe eyʼobwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.”
4Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri
5Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, nʼomukulembeze owʼekibuga, nʼabakuza abʼabaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna byʼonootulagira. Tetujja kufuula muntu nʼomu kabaka; gwʼoba okola kyʼolowooza nga kye kisinga obulungi.”
6Awo Yeeku nʼabawandiikira ebbaluwa eyookubiri ngʼagamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gyʼabatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.”
7Ebbaluwa bwe yabatuukako, ne bakwata abalangira ensanvu bonna ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, mwe baagiweerereza eri Yeeku e Yezuleeri.
8Omubaka nʼagenda nʼagamba Yeeku nti, “Emitwe gyʼabalangira bagireese.” Yeeku nʼalagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.”
9Yeeku nʼafuluma, nʼayimirira mu maaso gʼabantu bonna nʼayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna?
10Kale mukitegeere nga tewali kigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitalituukirira, kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.”
11Bwʼatyo Yeeku nʼatta abʼenju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; nʼatta nʼabakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo nʼomu.
12Awo Yeeku nʼasitula nʼayolekera Samaliya. Nʼasisinkana baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda mu kkubo okumpi nʼennyumba eyasalirwangamu endiga ebyoya,
13nʼababuuza nti, “Mmwe bʼani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka nʼabaana ba nnamasole.”
14Nʼalagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi nʼobunnya obwʼennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. Nʼatalekaawo nʼomu.
15Eyo bwe yavaayo, nʼasanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu
16Yeeku nʼamugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri Mukama.” Awo nʼatambulira wamu naye mu ggaali lye.
17Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, nʼatta bonna abaali basigaddewo abʼomu nnyumba ya Akabu, nʼabazikiriza ngʼekigambo kya Mukama kye yayogera eri Eriya bwe kyali.
18Awo Yeeku nʼakuŋŋaanya abantu bonna, nʼabagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo.
19Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, nʼabaweereza be bonna, waleme okubulawo nʼomu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali.
20Yeeku nʼalagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira.
21Awo nʼaweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, nʼokusigala nʼetasigala muntu nʼomu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali
22Yeeku nʼagamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna nʼabaleetera ebyambalo.
23Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku nʼagamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.”
24Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka nʼebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru wʼessabo, ngʼabalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako nʼomu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa nʼobulamu bwe ye.”
25Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, nʼalagira abaserikale nʼabaami nti, “Muyingire mu batte; waleme okuwonawo nʼomu.” Bwe baamala okubatta nʼekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali.
26Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya.
27Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.
28Awo Yeeku nʼamalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri.
29Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ngʼokusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.
30Mukama nʼagamba Yeeku nti, “Olwʼokukola obulungi nʼotuukiriza byonna mu maaso gange, nʼokola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe eyʼobwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.”
31Naye Yeeku nʼatassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo eryʼebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.
32Mu biro ebyo Mukama nʼatandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri nʼabawangula ngʼatandikira
33ku luuyi olwʼebuvanjuba mu nsi eyʼe Gireyaadi mu bitundu ebyʼAbagaadi, nʼAbalewubeeni, nʼAbamanase okuva ku Aloweri okuliraana ekiwonvu kya Alunoni nʼokuyita e Gireyaadi okutuuka e Basani.
34Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yeeku, nʼebintu byonna ebikulu bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe egya bassekabaka ba Isirayiri?
35Yeeku nʼafa, nʼaziikibwa mu Samaliya, Yekoyakaazi mutabani we nʼamusikira.
36Ebbanga Yeeku lye yafuga Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka amakumi abiri mu munaana.