2 Bassekabaka 11:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba mutabani we ngʼafudde, nʼatandika okusaanyaawo olulyo olulangira lwonna.

2Naye omumbejja Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya nʼabba Yekoyaasi[20] nʼamuggya mu balangira abaali bagenda okuttibwa, nʼabateeka ye nʼomukuza we mu kisenge ekimu ngʼabakweka Asaliya, era Yekoyaasi nʼatattibwa.

3Nʼabeera mu yeekaalu ya Mukama nʼomukuza we okumala emyaka mukaaga, Asaliya nga yʼafuga ensi.

4Mu mwaka ogwʼomusanvu Yekoyaada nʼatumya abaduumizi abʼebibinja byʼekikumi, abʼoku Bakali nʼabakuumi, ne babaleeta gyʼali mu yeekaalu ya Mukama. Nʼalagaana nabo endagaano, nʼabalayiriza mu yeekaalu ya Mukama, nʼoluvannyuma nʼabalaga mutabani wa kabaka.

5Nʼabawa ebiragiro bino nti, “Kino kye muteekwa okukola: kimu kya kusatu ku kibinja ekikuuma ku ssabbiiti, kye kinaakuumanga olubiri lwa kabaka,

6nʼekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma Omulyango Suuli, nʼekimu kya kusatu ekirala ne kikuuma emanju wʼomulyango ewabeera abakuumi abakuuma yeekaalu mu mpalo;

7nʼebibiina byammwe ebibiri ebitatera kukuuma ku ssabbiiti, mwenna mugenda kuvunaanyizibwa okukuuma yeekaalu ya Mukama ku lwa kabaka.

8Era muneetooloola kabaka enjuuyi zonna, buli muntu ngʼakutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, ne buli anaŋŋaanga okubasemberera attibwe. Mukuumenga kabaka butiribiri, bwʼanaafulumanga ne bwʼanaayingiranga.”

9Abaduumizi abʼebibinja bʼekikumi ne bakola byonna nga Yekoyaada kabona bwe yalagira, buli omu nʼafuna abasajja be, abaali abʼokukola ku ssabbiiti, nʼabaali bamaze oluwalo lwabwe, ne bajja eri Yekoyaada kabona.

10Kabona nʼawa abaduumizi amafumu nʼengabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu yeekaalu ya Mukama,

11buli mukuumi nʼayimirira nʼebyokulwanyisa bye nga beetoolodde kabaka enjuuyi zonna, okuliraana ekyoto ne yeekaalu okuva ku luuyi olwʼobukiikaddyo okutuuka ku luuyi olwʼobukiikakkono.

12Awo Yekoyaada nʼafulumya mutabani wa kabaka, nʼamutikkira engule, nʼamuwa nʼendagaano gye baali bakoze, ne bamufuula kabaka. Nʼafukibwako amafuta, abantu ne bakuba mu ngalo nga bwe bayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Wangaala kabaka!”

13Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lwʼabakuumi nʼolwʼabantu, nʼalaga eri abantu ku yeekaalu ya Mukama.

14Bwe yatunula, laba, nga kabaka ayimiridde awali empagi, ngʼempisa bwe yabanga, nʼabaami nʼabafuuwa amakondeere nga bayimiridde okuliraana kabaka, nʼabantu bonna abʼomu nsi nga basanyuka era nga bwe bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya nʼayuza ebyambalo bye, nʼaleekaanira waggulu nti, “Bujeemu, bujeemu!”

15Amangwago Yekoyaada kabona nʼalagira abaduumizi abʼebibinja bʼekikumi, abaali bakulira eggye nti, “Mumufulumye wakati wʼennyiriri, na buli amugoberera mumutte nʼekitala.” Kabona yali agambye nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.”

16Ne bakwata Asaliya, ngʼanaatera okuyita mu mulyango gwʼembalaasi wʼeziyingira mu luggya lwʼolubiri, ne bamuttira awo.

17Awo Yekoyaada nʼakola endagaano ne Mukama, ne kabaka nʼabantu, nti banaabeera abantu ba Mukama, era nʼakola nʼendagaano ne kabaka nʼabantu.

18Abantu bonna abʼomu nsi ne bagenda ku ssabo lya Baali ne balimenyaamenya; ne bamenyaamenya ebyoto nʼebifaananyi, era ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso gʼebyoto ebyo.

18Yekoyaada kabona nʼateekawo abakuumi ku yeekaalu ya Mukama.

19Awo nʼalaga nʼabaduumizi abʼebibinja bʼekikumi, nʼAbakali, nʼabakuumi, nʼabantu bonna abʼomu nsi ku yeekaalu, nʼaggyayo kabaka mu yeekaalu ya Mukama nʼamutwala mu lubiri ngʼayita mu mulyango ogwʼabakuumi. Kabaka nʼatuula ku ntebe eyʼobwakabaka,

20abantu bonna abʼomu nsi ne bajaguza, nʼekibuga nʼekitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa nʼekitala okumpi nʼolubiri.

21Yekoyaasi yali aweza emyaka musanvu bwe yatandika okufuga.

e>