2 Bassekabaka 12:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼomusanvu ogwʼobufuzi bwa Yeeku, Yekoyaasi, nnyina nga ye Zebbiya owʼe Beeruseba, nʼatandika okuba kabaka, nʼafugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi.

2Yekoyaasi nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga.

3Wabula, ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, nʼabantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka nʼokwoterezanga obubaane ku bifo ebyo.

4Awo Yekoyaasi nʼagamba bakabona nti, “Mukuŋŋaanye ensimbi zonna ezireetebwa ngʼebiweebwayo ebitukuzibwa mu yeekaalu ya Mukama, ensimbi ezʼomusolo buli muntu zʼawaayo, nʼensimbi buli muntu zʼawaayo ngʼendobolo mu yeekaalu, nʼensimbi buli muntu ze yeesalira kyeyagalire, nʼazireeta mu yeekaalu ya Mukama,

5nʼoluvannyuma buli kabona addire ezo zʼakuŋŋaanyizza aziweeyo okuddaabiriza buli aweetaagisa ku yeekaalu.”

6Naye oluvannyuma lwʼemyaka amakumi abiri mu esatu egyʼobufuzi bwa kabaka Yekoyaasi, bakabona ne baba nga tebannaddaabiriza yeekaalu.

7Awo kabaka Yekoyaasi[21] nʼatumya Yekoyaada kabona asinga obukulu ne bakabona abalala, nʼababuuza nti, “Kiki ekibalobera okuddaabiriza yeekaalu? Kale nno, mulekeraawo okutoola ku nsimbi ezikuŋŋaanyizibwa, naye muziweeyo olwʼokuddaabiriza yeekaalu.”

8Bakabona ne bakkiriziganya obutaddayo kukuŋŋaanya nsimbi ku bantu, wadde bo bennyini okuvunaanyizibwa okuddaabiriza yeekaalu.

9Yekoyaada kabona asinga obukulu nʼaddira essanduuko nʼawumula ekituli mu kisaanikizo kyayo, nʼagiteeka ku luuyi olwa ddyo okumpi nʼekyoto okuliraana nʼawayingirirwa. Bakabona abaakuumanga omulyango ne bateekangamu ensimbi zonna ezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama.

10Awo bwe baalabanga ngʼensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama ziweze nnyingi mu ssanduuko, omuwandiisi wa kabaka ne kabona asinga obukulu ne bajjanga okuzibala nʼokuzitereka.

11Nʼoluvannyuma ensimbi ezo baazikwasanga abasajja abaali baweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga omulimu ogwakolebwanga ku yeekaalu, bo ne basasulanga abakozi, nʼabazimbi abaabulijjo, nʼabazimbi bʼamayinja, nʼabatema amayinja, abo bonna nga baddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

12Ate era ku ezo ensimbi kwe baagulanga embaawo, nʼamayinja amabajje okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama nʼolwebirala ebyetaagisanga mu kuddaabiriza okwo.

13Ensimbi ezaaleetebwanga mu yeekaalu tezaakozesebwanga kukola bensani eza ffeeza, oba ebisalako ebisirinza, oba ebibya, oba amakondeere wadde ekintu kyonna ekya zaabu oba ffeeza ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama;

14kubanga baazisasulanga abakozi abaali baddaabiriza yeekaalu.

15Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa yʼensimbi ezo kubanga baakolanga nʼobwesigwa.

16Ensimbi ezaavanga mu biweebwayo ebyʼokulumiriza nʼebiweebwayo olwʼekibi tezaaleetebwanga mu yeekaalu ya Mukama, zaabanga za bakabona.

17Mu biro ebyo Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli nʼalumba ekibuga kyʼe Gaasi, nʼakiwamba, nʼoluvannyuma nʼatandika okulumba nʼe Yerusaalemi.

18Naye Yekoyaasi kabaka wa Yuda nʼaddira ebintu byonna ebyatukuzibwa Yekosafaati, ne Yekolaamu ne Akaziya bajjajjaabe bassekabaka ba Yuda, nʼebirabo bye yali awonze, ne zaabu yonna eyali mu mawanika, nʼabiggya mu yeekaalu ya Mukama nʼabiweereza Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli. Oluvannyuma Kazayeeri nʼalekayo okulumba Yerusaalemi.

19Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

20Abaami be ne beekobaana, ne bamuttira mu nnyumba eyʼe Miiro, ku kkubo eriserengeta e Siiro.

21Abaali mu lukwe olwo baali Yozakali mutabani wa Simeyaasi ne Yekozabadi mutabani wa Someri, era be baamutta. Nʼafa nʼaziikibwa awali bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Amaziya mutabani we nʼamusikira.

e>