1Mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi nʼafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era nʼafugira emyaka kkumi na musanvu.
2Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama ngʼakola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate nʼatabirekaayo.
3Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, nʼabawaayo okubeera wansi owʼomukono gwa Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli ne Benikadadi mutabani we.
4Awo Yekoyakaazi ne yegayirira Mukama, Mukama nʼamuwulira, era nʼalaba okucocca, kabaka wʼe Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri.
5Mukama nʼabaddiramu nʼabawa omulokozi, ne bawona obufuzi bwʼAbasuuli, nʼoluvannyuma Abayisirayiri ne babeeranga mirembe mu nnyumba zaabwe nga bwe baali olubereberye.
6Naye ne batalekaayo kukola ebibi ebyʼennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula beeyongeranga bweyongezi okubikola. Nʼempagi eyʼAsera nʼesigalayo mu Samaliya.
7Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, nʼamagaali kkumi, nʼabaserikale abʼebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka wʼe Busuuli yabizikiriza, nʼabifuula ngʼenfuufu eyʼomu gguuliro.
8Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyakaazi, ne bye yakola byonna, nʼebyobuzira bwe byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
9Yekoyakaazi nʼafa, nʼaziikibwa mu Samaliya, Yowaasi mutabani we nʼamusikira.
10Awo mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi nʼafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era nʼafugira emyaka kkumi na musanvu.
11Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nʼatalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola.
12Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, bye yakola byonna, nʼamaanyi ge, nga kwe kuli nʼolutalo lwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
13Yekoyaasi nʼafa, nʼaziikibwa mu Samaliya, Yerobowaamu nʼamusikira okuba kabaka.
14Awo mu biro ebyo Erisa nʼalwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi nʼaserengeta gyʼali okumulaba, nʼakaabira amaziga, mu maaso ge ngʼagamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali nʼabeebagala embalaasi aba Isirayiri!”
15Erisa nʼamuddamu nti, “Ffuna omutego nʼobusaale,” era nʼakola bwʼatyo.
16Nʼagamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bikwate mu ngalo.” Bwe yamala okukola ekyo, Erisa nʼateeka emikono gye ku gya kabaka.
17Erisa nʼamugamba nti, “Ggulawo eddirisa eryʼebuvanjuba,” nʼaliggulawo. Nʼamulagira okulasa. Erisa nʼayogera nti, “Akasaale ka Mukama akʼobuwanguzi, akasaale akʼobuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.”
18Nʼamugamba nti, “Kwata obusaale,” nʼabukwata. Nʼagamba kabaka wa Isirayiri okulasa ettaka. Nʼalirasa emirundi esatu, nʼakoma awo.
19Omusajja wa Katonda nʼamunyiigira, nʼamugamba nti, “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga, olwo nʼolyoka owangulira ddala Abasuuli era nʼobasaanyaawo. Naye kaakano olibawangula emirundi esatu gyokka.”
20Erisa nʼafa, nʼaziikibwa.
21Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja ekyʼabasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gwʼakoma ku magumba ga Erisa omusajja nʼalamuka, era nʼayimirira.
22Mu kiseera kye kimu Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli nʼajooga Isirayiri ebbanga lyonna Yekoyakaazi we yabeerera kabaka.
23Naye Mukama nʼabakwatirwa ekisa nʼabasaasira, era nʼassaayo omwoyo gye bali olwʼendagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. Nʼokutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge.
24Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli nʼafa, Benikadadi mutabani we nʼamusikira.
25Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi nʼawamba nate ebibuga Benikadadi mutabani wa Kazayeeri bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakaazi mu ntalo. Yowaasi ye nʼamuwangula emirundi esatu, era nʼakomyawo ebibuga bya Isirayiri ebyali biwambiddwa.