1Mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakaazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda nʼalya obwakabaka.
2Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini owʼe Yerusaalemi.
3Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe.
4Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka nʼokwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo.
5Bwe yalaba ngʼobwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, nʼatta abakungu abaatemula kabaka kitaawe.
6
7Yawangula abʼe Edomu mu Kiwonvu ekyʼOmunnyo, era nʼatta omutwalo gumu ku bo, nʼokuwamba nʼawamba Seera
8Awo mu biro ebyo Amaziya nʼatumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ngʼamusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso nʼamaaso.”
9Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri nʼaddamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gwʼaweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ngʼeyitawo nʼerinnyirira omwennyango.
10Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, nʼokugwa kwo era nʼokwa Yuda?”
11Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri nʼamulumba. Ne balabagana amaaso nʼamaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda.
12Yuda nʼawangulibwa Isirayiri, buli musajja nʼaddukira ewuwe.
13Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri nʼawambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, nʼamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki owʼoku Nsonda.
14Nʼatwala ezaabu nʼeffeeza yonna, nʼebikozesebwa byonna ebyali mu yeekaalu ya Mukama, nʼebyʼobugagga ebyali mu lubiri lwa kabaka, era nʼabantu nʼabatwala nga basibe, nʼaddayo e Samaliya.
15Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola nʼebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
16Yekoyaasi nʼafa nʼaziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu nʼamusikira okuba kabaka.
17Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi nʼawangaala emyaka kkumi nʼettaano emirala oluvannyuma lwʼokufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri.
18Ebyafaayo ebirala ebyʼomulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
19Ne bamusalira olukwe olwʼokumuttira mu Yerusaalemi, nʼaddukira e Lakisi, naye ne bamuwerekereza abasajja era ne bamuttira e Lakisi.
20Ne bakomyawo omulambo gwe ku mbalaasi, era nʼaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu Yerusaalemi, mu kibuga kya Dawudi.
21Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya owʼemyaka ekkumi nʼomukaaga kabaka, ngʼasikira kitaawe Amaziya.
22Ye yaddaabiriza Erasi era nʼazza Yuda obuggya, nga Amaziya amaze okufa.
23Mu mwaka ogwʼekkumi nʼettaano ogwʼobufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri nʼafuuka kabaka mu Samaliya, era nʼafugira emyaka amakumi ana mu gumu.
24Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nʼatakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
25Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi owʼe Gasukeferi, nʼazzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja eyʼOmunnyo.
26Mukama yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu nʼatali muddu, nga tewali ayinza ku babeera.
27Olwʼokubanga Mukama yali tagambye nti alisaanyaawo erinnya lya Isirayiri wansi wʼeggulu, nʼatuma Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi okubalokola.
28Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo nʼobuzira, nʼengeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
29Yerobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, bassekabaka ba Isirayiri, Zekkaliya mutabani we nʼamusikira okuba kabaka.