2 Bassekabaka 15:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼamakumi abiri mu omusanvu ogwʼobufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya nʼalya obwakabaka bwa Yuda[23].

2Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, nʼafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya owʼe Yerusaalemi.

3Yakola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yali akoze.

4Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka nʼokwoterezangayo obubaane.

5Awo Mukama nʼaleetera kabaka obulwadde nʼagengewala[24], ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era nʼaggyibwako emirimu egyʼobuvunaanyizibwa nʼateekebwa mu nnyumba eyʼenjawulo. Azaliya nʼasigira Yosamu[25] mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ezʼomu lubiri, era nʼafuganga nʼabantu abʼomu nsi.

6Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Azaliya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

7Awo Azaliya nʼafa, nʼaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we nʼamusikira okuba kabaka.

8Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu omunaana ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, nʼafugira emyezi mukaaga.

9Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, nʼatakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

10Awo Sallumu mutabani wa Yabesi, nʼasala olukwe nʼamuttira mu lujjudde lwʼabantu, era nʼalya obwakabaka.

11Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Zekkaliya, byawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

12 Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”

13Awo Sallumu mutabani wa Yabesi nʼatandika okufuga mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era nʼafugira omwezi gumu mu Samaliya.

14Menakemu mutabani wa Gaadi nʼava e Tiruza nʼagenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era nʼamutta. Ye nʼafuuka kabaka mu kifo kye.

15Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Sallumu, nʼolukwe lwe yasala, byawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

16Mu kiseera ekyo Menakemu nʼalumba Tifusa nʼazikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ngʼatandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo nʼabatta ngʼababaaga.

17Mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu mwenda ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri, era nʼafugira emyaka kkumi mu Samaliya.

18Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, nʼatakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

19Awo Puli[26] kabaka wʼe Bwasuli nʼalumba Isirayiri, naye Menakemu nʼamusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ngʼamusaba okumuwanirira nʼokumunyweza ku ntebe eyʼobwakabaka.

20Menakemu nʼasoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ngʼawaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka wʼe Bwasuli. Awo kabaka wʼe Bwasuli nʼabaviira mu nsi yaabwe.

21Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Menakemu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?

22Menakemu nʼafa, Pekakiya mutabani we nʼamusikira okuba kabaka.

23Mu mwaka ogwʼamakumi ataano ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era nʼafugira emyaka ebiri.

24Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, nʼatakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

25Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana nʼabasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo ekyʼomu lubiri e Samaliya. Peka nʼatta Pekakiya, nʼalya obwakabaka.

26Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Pekakiya, ne bye yakola byonna, byawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

27Mu mwaka ogwʼamakumi ataano mu ebiri ogwʼobufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era nʼafugira emyaka amakumi abiri.

28Yakola ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.

29Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka wʼe Bwasuli nʼalumba ebibuga: byʼe Iyoni, nʼe Aberubesumaaka, nʼe Yanowa, nʼe Kedesi, nʼe Kazoli, nʼe Gireyaadi nʼe Ggaliraaya, nʼensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo nʼabatwala nga basibe e Bwasuli.

30Awo Koseya mutabani wa Era nʼasala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, nʼamulumba era nʼamutta, nʼalya obwakabaka mu mwaka ogwʼamakumi abiri ogwʼobwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.

31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Peka, ne bye yakola byonna byawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri.

32Mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Yosamu mutabani wa Uzziya nʼalya obwakabaka bwa Yuda.

33Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era nʼafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki.

34Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola.

35Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka nʼokwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza nʼOmulyango ogwʼekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.

36Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

37Mu biro ebyo Mukama nʼatandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka wʼe Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya.

38Yosamu nʼafa, nʼaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Akazi mutabani we nʼamusikira okuba kabaka.

e>