2 Bassekabaka 16:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼekkumi nʼomusanvu ogwʼobufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi[27] mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga.

2Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era nʼafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi.

3Nʼatambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era nʼokuwaayo nʼawaayo mutabani we ngʼekiweebwayo, ngʼagoberera ebyʼemizizo ebyʼamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gʼAbayisirayiri.

4Nʼawangayo ssaddaaka, era nʼayoterezanga nʼobubaane ku bifo ebigulumivu, ku nsozi waggulu, ne wansi wa buli muti.

5Lezini kabaka wa Busuuli ne Peka, mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulumba Yerusaalemi ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula.

6Mu kiseera kye kimu, Lezini kabaka wa Busuuli nʼagoba abasajja ba Yuda okuva mu Erasi nʼakiddiza Abasuuli, era gye babeera ne leero.

7Awo Akazi nʼatuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka wʼe Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; nʼokuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye[28].”

8Akazi nʼaggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika agʼomu lubiri lwa kabaka, nʼagiweereza ngʼekirabo eri kabaka wʼe Bwasuli.

9Awo kabaka wʼe Bwasuli nʼawulira okwegayirira kwe, nʼalumba Ddamasiko, nʼakiwamba, nʼabantu abaabeerangamu nʼabaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era nʼokutta nʼatta Lezini.

10Awo kabaka Akazi nʼagenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka wʼe Bwasuli, era eyo nʼalabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi nʼaweereza Uliya kabona ekifaananyi kyʼekyoto ekyo, nʼengeri gye kiteekwa okuzimbibwa.

11Awo Uliya kabona nʼazimba ekyoto, ngʼebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era nʼagimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko.

12Kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, nʼalaba ekyoto, nʼakisemberera era ku kyo nʼaweerako ssaddaaka.

13Nʼaweerayo ssaddaaka eyʼekyokebwa ne ssaddaaka eyʼobutta nʼayiwako ne ssaddaaka eyʼekyokunywa, era nʼamansirako omusaayi ogwʼebiweebwayo olwʼemirembe ku kyoto.

14Nʼaggyawo ekyoto ekyʼekikomo ekyabeeranga mu maaso ga Mukama mu yeekaalu wakati wʼekyoto kye ne yeekaalu ya Mukama, nʼakiteeka ku luuyi olwʼobukiikaddyo obwʼekyoto kye.

15Awo kabaka Akazi nʼalagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼenkya nʼekiweebwayo ekyʼobutta ekyʼakawungeezi, ekyʼokuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, nʼekyokuwaayo kye ekyʼobutta, nʼekyokuwaayo ekyokebwa ekyʼabantu abʼomu nsi, nʼekiweebwayo kyabwe ekyʼobutta, nʼekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogwʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼomusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto ekyʼekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.”

16Uliya kabona nʼakola byonna, nga kabaka Akazi bwe yamulagira.

17Kabaka Akazi nʼatemako emigo gye biyimirirwako, ne bensani nʼaziggya kwe zaabeeranga, ate nʼaggya nʼennyanja okuva ku nte ennume ezʼekikomo, eza giwaniriranga, nʼagiteeka ku mayinja amaliire.

18Nʼaggyawo nʼekyabikkanga ku kkubo erya ssabbiiti eryali lizimbiddwa okumpi ne yeekaalu, ate era nʼaggyawo nʼekkubo erya kabaka eryʼebweru wa yeekaalu ya Mukama, olwa kabaka wʼe Bwasuli.

19Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu bufuzi Akazi, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

20Awo Akazi nʼafa nʼaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Keezeekiya mutabani we nʼamusikira okuba kabaka.

e>