2 Bassekabaka 17:1-41 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri ogwʼobufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya mutabani wa Era nʼafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, nʼafugira emyaka mwenda.

2Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, naye tebyenkana nga bassekabaka ba Isirayiri bye baakola.

3Salumaneseri kabaka wʼe Bwasuli nʼamulumba, Koseya nʼafuuka muddu we era nʼamuwanga obusuulu.

4Naye oluvannyuma kabaka wʼe Bwasuli nʼakizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka wʼe Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka wʼe Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata nʼamuteeka mu kkomera.

5Awo kabaka wʼe Bwasuli nʼalumba ensi yonna, nʼatuuka e Samaliya, nʼakizingiriza emyaka esatu.

6Mu mwaka ogwʼomwenda ogwa Koseya, kabaka wʼe Bwasuli nʼawamba Samaliya, nʼatwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[29] e Bwasuli, nʼabateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogwʼe Gozani, ne mu bibuga ebyʼAbameedi.

7Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala,

8ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga nʼemizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo.

9Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.

10Ne beesimbira empagi ezʼamayinja nʼeza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti.

11Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ngʼamawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu ebyʼekivve ne basunguwaza Mukama.

12 Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.”

13Mukama nʼalabula Isirayiri ne Yuda ngʼakozesa bannabbi nʼabalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange nʼebiragiro byange, ngʼetteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”

14Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe.

15Ne banyooma ebiragiro nʼendagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, nʼokulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ngʼamawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.

16Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi byʼennyana bibiri, ne mpagi eyʼAsera, ne basinza nʼeggye lyonna eryʼomu ggulu era ne basinzanga ne Baali.

17Ne bawaayo abaana baabwe aboobulenzi nʼaboobuwala ngʼebiweebwayo mu muliro, ne bakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ne beetunda okukola ebibi mu maaso ga Mukama, okumusunguwaza.

18Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, nʼabagoba mu maaso ge, nʼalekawo ekika kya Yuda kyokka.[30]

19Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri.

20Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, nʼababonereza, nʼabawaayo mu mikono gyʼabanyazi, nʼokubagoba nʼabagobera ddala okuva mu maaso ge.

21Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu nʼaleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, nʼabayonoonyesa nʼokusingawo.

22Abaana ba Isirayiri ne batambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yakola, ne batabirekaayo,

23okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ngʼayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.

24Awo kabaka wʼe Bwasuli nʼakuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, nʼabaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo.

25Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma[31] ne zitta abamu ku bo.

26Kabaka wʼe Bwasuli nʼategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala nʼobateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda wʼensi eyo,[32] kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda wʼensi kye yeetaaga.”

27Amangwago kabaka wʼe Bwasuli nʼalagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda wʼensi eyo.”

28Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya nʼagenda nʼabeera e Beseri, nʼabayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.

29Newaakubadde nga kabona yagendayo, buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe, ne babateeka mu masabo Abasamaliya ge baali bazimbye ku bifo ebigulumivu mu bibuga byabwe.

30Abasajja abʼe Babulooni ne bakola Sukkosubenosi, abasajja abʼe Kuusi ne bakola Nengali, abasajja abʼe Kamasi ne bakola Asima:

31Abavi ne bakola Nibukazi ne Talutaki, Abasefavayimu ne bookera abaana baabwe mu muliro, nga babawaayo ngʼebiweebwayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda ba Sefavayimu.

32Baasinzanga Mukama, naye ne balonda nʼabantu abʼengeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, abʼebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo agʼebifo ebigulumivu.

33Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ngʼempisa ezʼamawanga gye baali bavudde bwe zalinga.

34Ne leero bakyeyisa mu ngeri yʼemu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro nʼamateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri.

35Mukama bwe yakola endagaano nʼAbayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.

36Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro nʼamateeka, nʼetteeka, nʼekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala.

37Naye musinzanga Mukama eyabaggya mu Misiri nʼamaanyi amangi nʼomukono gwe, gwe yagolola. Oyo ggwe munavuunamiranga era ne muwaayo ssaddaaka eri ye.

38Temwerabiranga endagaano gye nakola nammwe, era temusinzanga bakatonda abalala.

39Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga yʼanaabalokolanga mu mukono gwʼabalabe bammwe bonna.”

40Naye ne batawuliriza, ne beeyongeranga mu mpisa zaabwe ezʼedda.

41Newaakubadde ngʼamawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.

e>