1Mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga.
2Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, nʼafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, nʼerinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
3Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.
4Nʼaggyawo ebifo ebigulumivu nʼamenyaamenya amayinja amoole, nʼatema nʼempagi eza Baasera. Nʼamenyaamenya omusota ogwʼekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.
5Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba nʼomu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira.
6Nʼanywerera ku Mukama, nʼataleka kumugoberera, era nʼakuuma nʼamateeka Mukama ge yawa Musa.
7Mukama nʼabeera wamu naye, era nʼabeera nʼomukisa mu buli kye yakolanga. Nʼagyemera kabaka wʼe Bwasuli, nʼagaana okumuweereza.
8Nʼawangula Abafirisuuti, mu buli kigo na buli kibuga ekyaliko bbugwe, okuva e Gaza nʼokutuuka ku nsalo zaakyo.
9Mu mwaka ogwokuna ogwʼobufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogwʼomusanvu ogwʼobufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka wʼe Bwasuli nʼalumba Samaliya nʼakizingiza.
10Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogwʼomukaga ogwʼobufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogwʼomwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa.
11Kabaka wʼe Bwasuli nʼatwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, nʼabateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gwʼe Gozani ne mu bibuga byʼAbameedi,
12kubanga tebagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye baasobya endagaano ye, nʼebyo byonna Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Naye ne batabiwulirizza wadde okubigondera.
13Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼena ogwʼobufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli nʼalumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, nʼabiwamba.
14Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼaweereza obubaka eri kabaka wʼe Bwasuli e Lakisi ngʼagamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna byʼononsalira.” Kabaka wʼe Bwasuli nʼawooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu.
15Keezeekiya nʼamuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama nʼeyo eyali mu mawanika agʼomu lubiri.
16Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda nʼaggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, nʼamuwa kabaka wʼe Bwasuli.
17Kabaka wʼe Bwasuli nʼatuma Talutani, omuduumizi we owʼoku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale nʼeggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olwʼekidiba ekyʼengulu
18Awo ne bayita kabaka, naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali ssabakaaki, Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda gye bali.
19Awo Labusake nʼabagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti,
20Olowooza nti ebigambo obugambo, kakoddyo akalaga amaanyi nʼobuvumu mu kulwana? Ani gwe weesiga, nʼokujeema nʼonjeemera?
21Laba nno, weesize Misiri, olumuli olwo olwatifu, oluyinza okufumita omukono gwʼomuntu ne lumuleetako ekiwundu. Bwʼatyo bwʼali Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri eri abo bonna abamwesiga.’
22Ate era bwʼoŋŋamba nti, ‘Twesize Mukama Katonda waffe,’ oyo si yʼomu Keezeekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu nʼebyoto, ngʼagamba Yuda ne Yerusaalemi nti ‘Munaasinzizanga mu maaso gʼekyoto kino mu Yerusaalemi?’
23Kale nno, jjangu oteese ne mukama wange kabaka wʼe Bwasuli, nange nʼakuwa embalaasi enkumi bbiri bwʼonooba ngʼolina abeebagazi.
24Onooyinza otya okuwangula omu ku baserikale ba mukama wange asembayo, bwʼonooba nga weesiga amagaali nʼabeebagala embalaasi abʼe Misiri?
25Olowooza nti nnyinza okujja okutabaala ekifo kino nʼokukizikiriza awatali kigambo kya Mukama? Mukama yennyini yaŋŋambye nyambuke nzikirize ensi eno.”
26Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera eri abaddu bo mu lulimi Olusuuli, kubanga tulutegeera. Toyogera naffe mu lulimi olwʼAbayudaaya ngʼabantu bonna abali ku bbugwe bawuliriza.”
27Naye Labusake nʼabaddamu nti, “Mulowooza nti mukama wange yantuma eri mukama wammwe nʼeri mmwe okwogera ebigambo bino, so si eri abasajja abatudde ku bbugwe, abali mu kabi nammwe kubanga okufaanana nga mmwe bagenda kulya empitambi yaabwe nʼokunywa omusulo gwabwe?”
28Awo Labusake nʼayimirira nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka mu lulimi olwʼAbayudaaya nti, “Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu, kabaka wʼe Bwasuli!
29Bwʼati bwʼayogera kabaka nti, ‘Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwange.
30Temuganya Keezeekiya kubasendasenda mwesige Mukama ngʼagamba nti, Mukama alibalokola, era nʼekibuga kino tekiriweebwayo mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli.’
31“Temuwuliriza Keezeekiya. Bwʼati bwʼayogera kabaka wʼe Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mujje gye ndi, buli omu ku mmwe anywe okuva mu muzabbibu ggwe, buli muntu ku mutiini gwe, na buli muntu anywe amazzi agʼomu kidiba kye ye;
32okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi eyʼeŋŋaano nʼomwenge omusu, ensi eyʼemigaati nʼennimiro ezʼemizabbibu, ensi eyʼamafuta aga zeyituuni nʼomubisi gwʼenjuki, mube balamu muleme okufa.’
33Waliwo katonda nʼomu owa baamawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli?
34Bali ludda wa bakatonda bʼe Kamasi nʼabʼe Alupadi? Bali ludda wa bakatonda bʼe Sefavayimu, abʼe Kena nʼabʼe Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange?
35Ani ku bakatonda abo bonna abʼensi ezo eyali alokodde ensi ye mu mukono gwange, mulyoke mulowooze nti Mukama alirokola Yerusaalemi mu mukono gwange?”
36Naye abantu ne basirika ne bataddamu kigambo na kimu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
37Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamutegeeza ebigambo Labusake bye yali ayogedde.