2 Bassekabaka 19:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, nʼayuza ebyambalo bye, nʼayambala ebibukutu, nʼalaga mu yeekaalu ya Mukama.

2Nʼatuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abʼoku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.

3Ne bamugamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ngʼabaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala.

4Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka wʼe Bwasuli bwe yaweereza ngʼanyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olwʼebigambo byonna Mukama Katonda wo byʼawulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”

5Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya,

6Isaaya nʼabagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, totya bigambo byʼowulidde, ebigambo ebyo abaddu ba kabaka wʼe Bwasuli bye banvumye,

7Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza nʼekitala.’ ”

8Labusake bwe yawulira nti kabaka wʼe Bwasuli avudde mu Lakisi, nʼavaayo, nʼasanga kabaka ngʼalwana ne Libuna.

9Awo Sennakeribu nʼafuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka wʼe Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era nʼaddamu nʼatuma ababaka eri Keezeekiya ngʼagamba nti,

10“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ngʼakusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli.’

11Ekyamazima wawulira bakabaka bʼe Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa?

12Bakatonda baamawanga agʼe Gozani, nʼe Kalani, nʼe Lezefu, nʼabantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola?

13Kabaka wʼe Kamasi, kabaka wʼe Alupadi, kabaka wʼekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka wʼe Kena oba kabaka wʼe Yiva, bali ludda wa?”

14Keezeekiya nʼafuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, nʼagisoma. Nʼayambuka nʼagenda mu yeekaalu ya Mukama, nʼagyanjuluza mu maaso ga Mukama.

15Keezeekiya nʼasaba eri Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda owʼobwakabaka bwonna obwʼensi, era ggwe wakola eggulu nʼensi.

16Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ngʼavvoola Katonda omulamu.

17“Kyamazima, Ayi Mukama, nti bakabaka bʼe Bwasuli baazikiriza amawanga nʼensi zaabwe,

18ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gyʼemikono gyʼabantu, nga mbaawo nʼamayinja, era kyebaava bazikirizibwa.

19Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

20Awo Isaaya mutabani wa Amozi nʼaweereza Keezeekiya obubaka nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli.

21Kino kye kigambo Mukama kyʼayogedde ku bimukwatako;

21Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma era akusekerera. Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe nga bwʼodduka.

22Ani gwʼovumye era nʼovvoola? Ani gwʼokandulidde eddoboozi lyo, era ani gwʼoyimusirizza amaaso go nʼamalala? Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!

23Ojereze Mukama ngʼoyita mu babaka bo, era ogambye nti, ‘Nninye ku ntikko zʼensozi nʼamagaali gange amangi, ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni. Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu nʼemiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi. Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.

24Nsimye enzizi mu bannamawanga, nʼenywa amazzi gaamu. Nkazizza emigga egyʼe Misiri gyonna, nga ngirinnyirira nʼebisinziiro byʼebigere byange.’ ”

24

25“Tewawulira nga nakisalawo dda? Mu biro ebyʼedda nakiteekateeka, era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ngʼentuumo yʼamayinja.

26Ababituulamu tebakyalina buyinza, batekemuse era baswazibbwa. Bafaanana ngʼebimera ebyʼomu nnimiro, ngʼomuddo omubisi, ngʼomuddo ogusibuse mu busolya bwʼennyumba, ne gutugibwa nga tegunnakula.”

26

27“Naye mmanyi obutuuliro bwo era mmanyi okufuluma kwo nʼokuyingira kwo nʼobuswandi bwʼondaga.

28Kubanga ondaze obuswandi bwo, nʼobujoozi bwo ne mbuwulira mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo nʼolukoba lwange mu mumwa gwo, era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.”

29“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya. Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mwʼekyo. Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule; era simba ennimiro ezʼemizabbibu, olye ku bibala bya kwo.

30Ekitundu ekisigaddewo ekyʼennyumba ya Isirayiri kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.

31Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.”

31Obuggya bwa Mukama owʼEggye bulikituukiriza.

32“Mukama kyava ayogera bwʼati ku bikwata ku kabaka wʼe Bwasuli, nti, ‘Taliyingira mu kibuga kino, wadde okulasayo akasaale. Talikisemberera nʼengabo wadde okutuumako ekifunvu ngʼakitaayiza.

33Ekkubo lye yakwata ngʼajja, omwo mwʼaliddira, naye taliyingira mu kibuga kino,’

33bwʼayogera Mukama.

34‘Ndirwanirira ekibuga kino okukirokola, ku lwange, ne ku lwʼomuddu wange Dawudi.’ ”

35Ekiro ekyo malayika wa Mukama nʼagenda mu nkambi eyʼAbasuuli nʼatta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo.

36Awo Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli nʼava mu nkambi, nʼaddayo ewuwe, nʼagenda nʼabeera e Nineeve.

37Awo bwe yali ngʼasinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta nʼekitala, ne baddukira mu nsi yʼe Alalati. Esaladoni mutabani we nʼamusikira.

e>