2 Bassekabaka 2:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama bwe yali ngʼanaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga eyʼamaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali,

2Eriya nʼagamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri[2] Mukama gyʼantumye.” Naye Erisa nʼamuddamu nti, “Mazima nga Mukama bwʼali omulamu, era nga nawe bwʼoli omulamu, siireme kugenda naawe.”

2Awo ne baserengeta bonna e Beseri.

3Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”

3Erisa nʼabaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”

4Eriya nʼaddamu omulundi ogwokubiri nʼagamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gyʼantumye.” Naye Erisa nʼamuddamu nti, “Mazima nga Mukama bwʼali omulamu, era nga nawe bwʼoli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne bagenda bonna e Yeriko.

5Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa nʼabaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”

6Eriya nʼaddamu nate nʼamugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gyʼantumye.” Naye Erisa nʼamuddamu nti, “Mazima nga Mukama bwʼali omulamu, era nga nawe bwʼoli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne batambula bombi.

7Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lwʼomugga Yoludaani.

8Awo Eriya nʼaddira omunagiro gwe nʼaguzinga wamu nʼakuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo nʼamalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.

9Awo bwe baamala okusomoka, Eriya nʼabuuza Erisa nti, “Kiki kyʼoyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa nʼamuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egyʼOmwoyo akuliko.”

10Nʼamugamba nti, “Kyʼosabye kigambo kizibu, naye bwʼonondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bwʼosabye, naye bwʼotondabe tekiibe bwe kityo.”

11Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali eyʼomuliro nʼembalaasi ezʼomuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya nʼatwalibwa mu ggulu mu mbuyaga eyʼamaanyi.

12Awo Erisa bwe yalaba ekyo, nʼayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali nʼabeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa nʼataddamu kumulaba nate. Nʼaddira engoye ze yali ayambadde, nʼaziyuzaayuza.

13Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ngʼatwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda nʼaddayo ku mugga Yoludaani nʼayimirira ku lubalama lwʼomugga.

14Nʼaddira omunagiro gwe yali alonze nʼaguzinga nʼakuba amazzi nʼayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo nʼamalala ku luuyi olwa kkono, nʼasomoka.

15Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira.

16Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte nʼamuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”

16Erisa nʼabaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”

17Naye bwe baamuwaliriza, nʼatendewalirwa, nʼabagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba.

18Bwe bakomawo gyʼali mu Yeriko, nʼabagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”

19Awo abasajja abʼomu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bwʼolaba, naye amazzi gaamu mabi, era nʼensi si njimu.”

20Nʼabagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera.

21Nʼaserengeta ku nsulo eyʼamazzi, nʼayiwamu omunnyo, nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ”

22Amazzi ne galongooka, ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, nʼokutuusa ku lunaku lwa leero.

23Erisa bwe yava eyo nʼakwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ngʼali mu kkubo, nʼasisinkana abavubuka abʼomu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe owʼekiwalaata! Mulabe owʼekiwalaata!”

24Nʼakyuka nʼabatunuulira, nʼabakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri ebyʼekika ekyʼeddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo.

25Ne yeeyongerayo nʼalaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma nʼaddayo e Samaliya[3].

>