1Mu biro ebyo Keezeekiya nʼalwala nʼabulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi nʼagenda gyʼali nʼamugamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”
2Keezeekiya ne yeekyusa nʼatunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ngʼagamba nti,
3“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa nʼomutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya nʼakaaba nnyo.
4Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti,
5“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze wʼabantu bange nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era nʼamaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lwʼennaku ssatu onooyambuka nʼolaga mu yeekaalu ya Mukama.
6Ndikwongerako emyaka emirala kkumi nʼettaano, era laba ndikulokola ggwe nʼekibuga kino mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lwʼomuddu wange Dawudi.’ ”
7Awo Isaaya nʼalagira baleete ekitole kyʼettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya nʼawona.
8Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”
9Isaaya nʼaddamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gyʼoli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”
10Keezeekiya nʼaddamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”
11Awo Isaaya nʼakoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama nʼazzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.
12Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka wʼe Babulooni nʼaweereza Keezeekiya ebbaluwa nʼekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde.
13Keezeekiya nʼayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, nʼabalambuza amawanika ge gonna omwali ebyʼomuwendo ebingi ngʼeffeeza, ne zaabu, nʼebyakaloosa nʼamafuta agʼomuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, nʼebyʼomuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya kyʼataabalaga.
14Awo nnabbi Isaaya nʼagenda eri Kabaka Keezeekiya nʼamubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”
15Nnabbi nʼamubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”
16Isaaya nʼagamba Keezeekiya nti, “Wuliriza ekigambo kya Mukama:
17Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bwʼayogera Mukama.
18“Era abamu ku bazzukulu bo, abʼomubiri gwo nʼomusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka wʼe Babulooni.”
19Keezeekiya nʼaddamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo kyʼoyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe nʼobutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”
20Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya nʼebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba nʼomudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo kyʼebyafaayo ekyʼebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda?
21Keezeekiya nʼafa, mutabani we Manase nʼamusikira okuba kabaka.