1Manase yatandika okufuga ngʼalina emyaka kkumi nʼebiri, era nʼafugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba.
2Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu makubo amabi agʼamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gʼAbayisirayiri.
3Yaddamu nʼazimba ebifo ebigulumivu ebyʼokusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba nʼebyoto ebya Baali, nʼasimba nʼempagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, nʼokusinza nʼasinza eggye eryʼomu ggulu.
4Yazimba nʼebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yali ayogeddeko nti, “Mu Yerusaalemi mwe mulibeera Erinnya lyange.”
5Era yazimbira eggye lyonna eryʼomu ggulu ebyoto mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama.
6Nʼawaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ngʼakola ebyʼobufumu nʼebyʼobulogo, ate ngʼalagulwa nʼabaliko emizimu, nʼabalogo. Nʼakola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era nʼamusunguwaza.
7Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera nʼakiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ngʼagamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna.
8Siriddayo nate kujja bigere ebyʼAbayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu nʼamateeka omuddu wange Musa ge yabawa.”
9Naye abantu tebaawuliriza, era Manase nʼabasendasenda okukola ebibi okusinga nʼebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso gʼAbayisirayiri bye gaakola.
10Awo Mukama nʼayogerera mu baddu be bannabbi
11nti, “Olwʼemizizo gino Manase kabaka wa Yuda gyʼakoze, ngʼayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, nʼayonoonyesa Yuda nʼebifaananyi bye,
12bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala.
13Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya nʼejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ngʼomuntu bwʼakomba esowaani okumalirako ddala emmere, nʼokugifuula nʼagifuula.
14Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo ekyʼobusika bwange, ne nkigabula mu mukono gwʼabalabe baabwe, ne bababbako buli kantu,
15kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri nʼokutuusa ku lunaku lwa leero.’ ”
16Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gwʼabo abataaliko musango, nʼagujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama.
17Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Manase, ne byonna bye yakola, okwo nga kwe kuli nʼebibi bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
18Awo Manase nʼafa, nʼaziikibwa mu nnimiro eyʼolubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni nʼamusikira okuba kabaka.
19Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi owʼe Yotuba.
20Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
21Nʼatambulira mu ngeri za kitaawe, nʼasinzanga ebifaananyi kitaawe bye yasinzanga.
22Yava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, nʼatatambulira mu kkubo lya Mukama.
23Awo abakungu ba Amoni ne bamusalira olukwe, ne bamuttira mu lubiri lwe.
24Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olwʼokumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.
25Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amoni, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
26Kabaka nʼaziikibwa mu ntaana ye mu nnimiro ya Uzza, mutabani we Yosiya nʼamusikira okuba kabaka.