1Yosiya nʼatandika okufuga nga wa myaka munaana, era nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ngʼerinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya owʼe Bozukasi.
2Nʼakola ebirungi mu maaso ga Mukama, ngʼatambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.
3Mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka nʼatuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya Mukama. Nʼamugamba nti,
4“Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gwʼensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama abaggazi ze basoloozezza ku bantu.
5Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya Mukama,
6ababazzi, nʼabazimbi, nʼabaasa bʼamayinja. Ate era baguleko nʼembaawo nʼamayinja amateme nga byonna bya kuddaabiriza yeekaalu.
7Naye tebabuuzibwa engeri gye bakozesezaamu ensimbi ezo, kubanga basajja abakola nʼobwesigwa.”
8Awo Kirukiya kabona asinga obukulu nʼategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo ekyʼAmateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu
9Safani omuwandiisi nʼaddayo eri kabaka nʼamugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi nʼabalabirizi abʼomulimu okuzikozesa nʼokulabirira enkozesa yaazo.”
10Ate era Safani omuwandiisi nʼategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani nʼakisomera kabaka.
11Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyasomebwa okuva mu Kitabo ekyʼAmateeka nʼayuza ebyambalo bye.
12Nʼalagira Kirukiya kabona, Akikamu mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti,
13“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, nʼabantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo ebyʼomu kitabo kino, era tebaakola ngʼebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”
14Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika wʼebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi.
15Nʼabagamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti,
16‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino nʼabantu bano akabi, ngʼebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda byʼasomye.
17Olwʼokunvaako nʼolwʼokwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba nʼomu alibukkakkanya.’
18Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ebikwata ku bigambo bye wawulidde:
19kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate nʼoyuza nʼebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bwʼayogera Mukama.
20Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, nʼoziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ”