2 Bassekabaka 23:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Awo kabaka nʼayita abakadde bonna aba Yuda nʼabʼomu Yerusaalemi.

2Nʼayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, nʼabantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. Nʼasoma ebigambo ebyʼomu Kitabo ekyʼEndagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira.

3Awo kabaka nʼayimirira okuliraana empagi nʼazza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, nʼokukwatanga amateeka ge, nʼokutambuliranga mu mpya ze, nʼokugonderanga ebiragiro bye, nʼomutima gwe gwonna, nʼemmeeme ye yonna, ngʼakakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.

4Awo kabaka nʼalagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu nʼabaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali nʼebya Asera, nʼebyʼeggye lyonna eryʼomu ggulu, nʼabyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu nʼalitwala e Beseri[36].

5Nʼagoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda nʼokwetooloola Yerusaalemi, nʼabo abayoterezanga obubaane eri Baali nʼenjuba nʼomwezi, nʼeri emunyeenye nʼeri eggye lyonna eryʼomu ggulu.

6Nʼaggya empagi ya Asera[37] mu yeekaalu ya Mukama, nʼagitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, nʼagyokera eyo. Nʼagisekulasekula nʼasaasaanya evvu lyayo ku malaalo agʼabantu abaabulijjo.

7Ate era yamenyaamenya nʼennyumba ezʼabaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.

8Awo Yosiya nʼaleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, nʼayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era nʼamenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki owʼoku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze owʼekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki owʼekibuga.

9Newaakubadde nga bakabona bali abʼoku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.

10Yavvoola era nʼamenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu kyʼabaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ngʼekiweebwayo eri Moleki.

11Era yaggyawo nʼembalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era nʼayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana nʼekisenge ekyali ekyʼomukungu Nasanumereki.

12Yamenyaamenya nʼebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi nʼekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era nʼebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, nʼabimenyaamenya, enfuufu yaabyo nʼagiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni.

13Era kabaka nʼayonoona nʼebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba wʼe Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olwʼokuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda abʼomuzizo: Asutoleesi katonda omukazi owʼAbasidoni, ne Kemosi owʼAbamowaabu, ne Mirukomu owʼAbamoni.

14Nʼamenyaamenya empagi, nʼatemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo nʼabijjuza amagumba gʼabantu.

15Era nʼekyoto ekyali e Beseri, nʼekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya nʼabimenyaamenya. Nʼayokya era nʼasekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era nʼayokya nʼempagi eya Asera.

16Awo Yosiya bwe yatunulatunula, nʼalaba amalaalo agaali ku lusozi, nʼagenda nʼaggyamu amagumba gʼabafu nʼagokera ku kyoto nʼakyonoona, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.

17Awo kabaka nʼabuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja abʼekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo agʼomusajja wa Katonda eyava mu Yuda nʼalangirira ebigambo ebikwata ku kyoto ekyʼe Beseri, byʼokikoze.”

18Nʼabagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi owʼe Samaliya.

19Nʼamasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya nʼagavvoola era nʼagaggyawo nga bwe yakola e Beseri.

20Yosiya nʼatta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe nʼagokera okwo, nʼoluvannyuma nʼaddayo e Yerusaalemi.

21Awo kabaka nʼalagira abantu bonna ngʼagamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ngʼekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo ekyʼendagaano.”

22Okuviira ddala ku mirembe gyʼabalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri nʼaba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga eyʼOkuyitako.

23Naye mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo nʼebaawo mu Yerusaalemi.

24Ate era nʼabafumu, nʼaboogeza emizimu, nʼebifaananyi, nʼebyʼemizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, nʼabiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo ebyʼetteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama.

25Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama nʼomutima gwe gwonna, nʼemmeeme ye yonna era nʼamaanyi ge gonna, ngʼagoberera Amateeka ga Musa.

26Kyokka Mukama nʼatakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olwʼebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala.

27Awo Mukama nʼayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era nʼekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.”

28Ebyafaayo ebirala byonna ebyʼomu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

29Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri nʼayambuka okutabaala kabaka wʼe Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya nʼagenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ngʼajja, nʼamuttira e Megiddo.

30Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu abʼomu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka nʼasikira kitaawe okuba kabaka.

31Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya owʼe Libuna.

32Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola.

33Falaawo Neko nʼamuggya ku bwakabaka nʼamusibira mu masamba e Libula mu nsi yʼe Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era nʼasalira Yuda omusolo ogwʼeffeeza ttani ssatu ne bisatu bya kuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya.

34Awo Falaawo Neko nʼafuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, nʼakyusa nʼerinnya lye, nʼamutuuma Yekoyakimu. Nʼaggyayo Yekoyakaazi, nʼamutwala e Misiri, era eyo gye yafiira.

35Awo Yekoyakimu nʼawangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, nʼabaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.

36Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya owʼe Luuma.

37Naye nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.

e>