1Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼalumba, era nʼafuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma nʼajeema, nʼakola olutalo ku Nebukadduneeza.
2Awo Mukama nʼasindikira Yekoyakimu ebibinja byʼAbakaludaaya, nʼAbasuuli, nʼAbamowaabu, nʼAbamoni, nʼabatuma okulumba Yuda, ngʼekigambo kya Mukama kye yayogerera mu baweereza be bannabbi bwe kyali.
3Era ddala ebyo byʼatuukirira ku Yuda ngʼekiragiro kya Mukama bwe kyali, okubaggya mu maaso ge olwʼebibi bya Manase nʼebirala byonna bye yakola,
4ngʼokwo kwe kuli okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Yajjuza Yerusaalemi nʼomusaayi ogutaliiko musango, Mukama kye yali tagenda kusonyiwa.
5Ebyafaayo ebirala ebyaliwo ku mulembe gwa Yekoyakimu ne byonna bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
6Awo Yekoyakimu nʼafa, mutabani we Yekoyakini nʼamusikira okuba kabaka.
7Kabaka wʼe Misiri teyava nate mu nsi ye, kubanga kabaka wʼe Babulooni yali awambye ebibye byonna okuviira ddala ku mukutu gwʼOmugga ogwʼe Misiri oguyiwa ku Nnyanja Ennene okutuuka ku Mugga Fulaati.
8Yekoyakini we yafuukira kabaka yalina emyaka kkumi na munaana, era nʼafugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Nekusita muwala wa Erunasani owʼe Yerusaalemi.
9Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe bwe yakola.
10Mu biro ebyo eggye lya Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni ne lirumba ekibuga kyʼe Yerusaalemi, ne kizingizibwa.
11Nebukadduneeza yennyini nʼajja mu kibuga, ngʼeggye lye likyakizingizza.
12Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, nʼabaddu ba kabaka, nʼabakungu be, nʼabaami be bonna ne beewaayo eri kabaka wʼe Babulooni mu mwaka gwe ogwʼomunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini nʼatwalibwa nga musibe.
13Era mu kiseera kye kimu, Nebukadduneeza nʼatwala ebyʼobugagga byonna okuva mu yeekaalu ya Mukama, nʼokuva mu lubiri lwa kabaka, era nʼatemaatema ebibya byonna ebya zaabu, Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yali akoze ngʼabitadde mu yeekaalu ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira.
14Nʼatwala Yerusaalemi kyonna, nʼabakungu bonna, nʼabasajja abalwanyi bonna, ne baffundi bonna nʼabaweesi bonna mu buwaŋŋanguse, awamu ne bawera abantu ngʼomutwalo gumu. Abasemberayo ddala obwavu be yalekamu bokka.
15Nebukadduneeza nʼatwala Yekoyakini e Babulooni nga musibe okuva mu Yerusaalemi, era nʼatwala ne nnyina, ne bakyala ba kabaka, nʼabakungu be, nʼabaami abaali abʼekitiibwa mu nsi.
16Ate era yawamba abasajja abʼamaanyi kasanvu, ne baffundi nʼabaweesi lukumi, bonna nʼabatwala e Babulooni nga basibe.
17Nebukadduneeza nʼaddira Mataniya kitaawe wa Yekoyakini omuto, nʼamufuula kabaka, era nʼamukyusa nʼerinnya nʼamutuuma Zeddekiya.
18Zeddekiya we yafuukira kabaka yalina emyaka amakumi abiri mu gumu, era nʼafugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya owʼe Libuna.
19Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yekoyakini bwe yakola.
20Ebyo byonna ebyatuuka ku Yerusaalemi ne ku Yuda, byabaawo olwʼobusungu bwa Mukama obwababubuukirako, era nʼoluvannyuma nʼabagoba mu maaso ge. Naye oluvannyuma Zeddekiya yʼajeemera kabaka wʼe Babulooni.