2 Bassekabaka 25:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼeggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olwʼekkumi mu mwezi ogwʼekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola.

2Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya yʼakyali kabaka.

3 Ku lunaku olwʼomwenda mu mwezi ogwokuna enjala nʼeba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu abʼomu nsi ne babulwako nʼemmere eyʼokulya.

4Awo kabaka nʼeggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna.

5Naye eggye lyʼAbakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ezʼe Yeriko nʼeggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira.

6Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka wʼe Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango.

7Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, nʼatwalibwa e Babulooni.

8Awo ku lunaku olwʼomusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogwʼekkumi nʼomwenda ogwʼobwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka wʼe Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi owʼeggye lya kabaka eryʼoku ntikko, ate nga mwami wa kabaka wʼe Babulooni nʼajja mu Yerusaalemi.

9Nʼayokya yeekaalu ya Mukama, nʼolubiri lwa kabaka, nʼennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kyamuwendo mu Yerusaalemi.

10Awo eggye lyonna eryʼAbakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi owʼeggye eryʼoku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi.

11Nebuzaladaani omuduumizi owʼeggye eryʼoku ntikko nʼatwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, nʼabaali baasenga kabaka wʼe Babulooni, nʼabalala bonna abaali mu kibuga.

12Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu nʼokulimanga.

13Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ezʼebikomo nʼebyuma ebyawaniriranga ennyanja eyʼekikomo, nʼennyanja eyʼekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, nʼebikomo byamu ne babitwala e Babulooni.

14Era baatwala nʼentamu, nʼebisena, nʼebisalako ebisirinza, nʼebijiiko nʼebintu byonna ebyʼekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu.

15Omuduumizi owʼeggye eryʼoku ntikko nʼatwala nʼebyoterezo wamu nʼebibya ebyali ebya zaabu nʼebyali ebya ffeeza.

16Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja eyʼekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa.

17Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ngʼobugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa nʼebifaananyi nʼamakomamawanga agʼekikomo okukyetooloola. Nʼempagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri yʼemu.

18Omuduumizi owʼeggye eryʼoku ntikko nʼatwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, nʼomumyuka we Zeffaniya, nʼabaggazi abasatu.

19Era yatwala nʼomukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, nʼabakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era nʼatwala nʼomuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, nʼabasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga.

20Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi owʼeggye eryʼoku ntikko nʼabatwalira kabaka wʼe Babulooni e Libula.

21Kabaka wʼe Babulooni nʼabattira eyo e Libula, mu nsi yʼe Kamasi.

21Bwʼatyo Yuda nʼatwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.

22Awo Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼalonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze wʼabo abaali basigaddewo mu Yuda.

23Awo abakungu abʼeggye nʼabasajja abalala bwe baawulira nga kabaka wʼe Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani wʼOmumaakasi.

24Gedaliya nʼabalayirira bo nʼabasajja baabwe nʼabagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka wʼe Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”

25Naye mu mwezi ogwʼomusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama owʼolulyo olulangira nʼajja nʼabasajja kkumi, nʼalumba Gedaliya era nʼamutta, awamu nʼAbayudaaya; nʼAbakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo nʼabatta.

26Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku wʼeddaala erya waggulu, nʼabamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.

27Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka wʼe Babulooni, Evirumerodaki nʼata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olwʼamakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogwʼekkumi nʼebiri.

28Nʼayogera naye ebigambo ebyekisa, nʼamuwa nʼekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni.

29Awo Yekoyakini nʼaggyamu ebyambalo bye ebyʼekkomera nʼaliiranga wamu ne kabaka wʼe Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ezʼobulamu bwe.

30Kabaka nʼawanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ezʼobulamu bwe.

e>