2 Bassekabaka 3:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼekkumi nʼomunaana ogwʼobwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu nʼalya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era nʼafugira emyaka kkumi nʼebiri.

2Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga teyatuuka ku bibi bya kitaawe ne nnyina. Yazikiriza nʼempagi eya Baali kitaawe gye yali asimbye.

3Newaakubadde ngʼekyo yakikola, teyalekayo kukola ebibi ngʼebyo Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola, nʼayonoonyesa Isirayiri.

4Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogwʼokuwangayo abaana bʼendiga emitwalo kkumi, nʼebyoya byʼendiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu.

5Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu nʼatandika okujeemera kabaka wa Isirayiri.

6Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu nʼasitula okuva e Samaliya, nʼakunga Isirayiri yenna okugenda naye.

7Nʼatumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?”

7Yekosafaati nʼamuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bwʼoli, era abantu bange be bantu bo, nʼembalaasi zange ze zizo.”

8Yekosafaati nʼamubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu nʼamuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu[4].”

9Awo kabaka wa Isirayiri, nʼasitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu[5] ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, nʼoluvannyuma ne beesanga ngʼeggye amazzi galiweddeko, nga nʼebisolo byabwe tebirina wadde ettondo.

10Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. Nʼayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?”

11Kyokka Yekosafaati nʼabuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri nʼamuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya owʼoku mwanjo.”

12Yekosafaati nʼayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gyʼali.

13Awo Erisa nʼagamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo nʼaba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri nʼamuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”

14Erisa nʼayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bwʼali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo.

15Naye kaakano, mundeetere omukubi wʼennanga.” Omukubi wʼennanga bwe yali ngʼakyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa,

16nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’

17Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, nʼente zammwe zinaanywa, nʼebisolo byammwe ebirala nabyo binywe.

18Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga Mukama, era nʼAbamowaabu mujja kubawangula.

19Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza nʼenzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”

20Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera ekyʼokuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi nʼejjula amazzi.

21Abamowaabu bonna bwe baawulira nga bakabaka babalumbye okulwana nabo, buli musajja, omuto nʼomukulu abaali basobola okwambala ebyokulwanyisa, ne bayitibwa okugenda okutabaala.

22Enkeera enjuba bwe yayaka ku mazzi, Abamowaabu ne balowooza nti amazzi mamyufu kubanga gaabalabikira ngʼomusaayi.

23Ne bagamba nti, “Guno musaayi! Kirabika nga bakabaka baalwanye bokka ne bokka, ne battiŋŋana, kale Mowaabu mugwe ku munyago.”

24Naye Abamowaabu bwe baali nga baakayingira mu nkambi yʼAbayisirayiri, amangwago Abayisirayiri ne batandika okulwana nabo, okutuusa Abamowaabu lwe badduka.

25Ne bamenyaamenya ebibuga byʼAbamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ezʼamazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja abʼenvuumuulo ne bakirumba.

26Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba ngʼolutalo lumugendedde bubi, nʼatwala abasajja abʼebitala lusanvu, ne bagenda naye okulumba kabaka wa Edomu, kyokka ne balemelerwa.

27Nʼaddira mutabani we omuggulanda, eyali ateekwa okumusikira, nʼamuweerayo ku bbugwe wʼekibuga ngʼekiweebwayo ekyokebwa. Abayisirayiri ne beesisiwala nnyo ne beetamwa, era ne baddayo mu nsi yaabwe.

>