2 Bassekabaka 4:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka ne wabaawo nnamwandu, eyali afumbiddwa omu ku abo abaali mu kibiina kya bannabbi, nʼagenda eri Erisa ngʼakaaba nʼamugamba nti, “Omuddu wo, baze yafa, era omanyi nga omuddu wo yatyanga Mukama. Naye kaakano eyali amubanja azze, ngʼayagala okutwala batabani bange okubafuula abaddu be.”

2Erisa nʼamuddamu nti, “Oyagala nkuyambe ntya? Ntegeeza, olina ki mu nnyumba?” Nʼamugamba nti, “Omuweereza wo kyʼalinawo kyokka mu nnyumba twe tufuta[6] otutono ennyo.”

3Erisa nʼamugamba nti, “Genda mu baliraanwa bo bonna obeeyazikeko ebintu ebyereere, nga bingi ddala.

4Oyingire mu nnyumba yo weggaliremu ggwe ne batabani bo, ottululire amafuta mu bintu ebyo byonna, ngʼekijjula kyʼossa wa bbali.”

5Bwe yava waali nʼaddayo eka ne yeggalira mu nnyumba ye nʼabaana be. Ne bamuleetera ebita nga ye bwʼattulula.

6Ebintu byonna ebyali awo bwe byajjula, nʼagamba omu ku batabani be nti, “Ndeetera ekintu ekirala.” Naye nʼamuddamu nti, “Biweddeyo.”

6Awo amafuta ne gakoma.

7Amangwago nnamwandu nʼaddayo ewʼomusajja wa Katonda. Omusajja wa Katonda nʼamugamba nti, “Genda otunde amafuta ago, osasule amabanja go, ebinaafikkawo bikuliisenga ggwe ne batabani bo.”

8Awo olwatuuka Erisa nʼagenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere eyʼomu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, nʼakyamira eyo okulya ku mmere.

9Omukazi nʼagamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano.

10Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda nʼemmeeza, nʼentebe, nʼettabaaza byʼanaakozesanga ngʼazze okutukyalira.”

11Lumu, Erisa nʼakyalayo, nʼagenda mu kisenge kye, nʼawummulirako eyo.

12Nʼagamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” Nʼamuyita, nʼajja nʼayimirira mu maaso ge.

13Erisa nʼagamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ewʼomuduumizi wʼeggye ku nsonga yonna?’ ”

13Nʼamuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”

14Erisa nʼabuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi nʼaddamu nti, “Laba talina mwana, ate ngʼakaddiye.”

15Erisa nʼamugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, nʼajja nʼayimirira mu mulyango.

16Erisa nʼamugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ngʼebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.” Omukyala nʼamuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”

17Naye oluvannyuma omukazi nʼaba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, nʼazaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.

18Omwana nʼakula, naye olunaku lumu nʼaddukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro nʼabakunguzi.

19Nʼamutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!” Kitaawe nʼagamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”

20Awo omuddu nʼamusitula nʼamutwala eri nnyina, omwana nʼatuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa eyʼomu ttuntu nʼoluvannyuma nʼafa.

21Nnyina nʼasitula omulambo gwe, nʼagutwala waggulu nʼaguteeka ku kitanda ekyʼomusajja wa Katonda, nʼafuluma, nʼaggalawo oluggi.

22Nʼatumira bba ngʼagamba nti, “Mpayo omuddu omu nʼendogoyi emu ŋŋende mangu ewʼomusajja wa Katonda, nkomewo.”

23Nʼamubuuza nti, “Kiki ekikutwala gyʼali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi nʼamuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.”

24Ne yeebagala endogoyi, nʼagamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.”

25Ne basitula, nʼagenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri[7]. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ngʼakyali walako, nʼagamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli!

26Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’ ”

26Omukazi nʼamuddamu nti, “Kiri bulungi.”

27Bwe yatuuka okumpi nʼolusozi awaali omusajja wa Katonda, nʼagwa wansi ne yeenyweza ku bigere byʼomusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi nʼajja ngʼayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda nʼamugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.”

28Omukazi nʼalyoka ayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?”

29Erisa nʼagamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bwʼosobola. Bwʼonoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bwʼakulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi kyʼomwana.”

30Naye nnyina wʼomwana nʼagamba nti, “Nga Mukama bwʼali omulamu, era nga naawe bwʼoli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa nʼasituka nʼamugoberera.

31Gekazi ye nʼabakulemberamu, nʼagenda nʼateeka omuggo ku kyenyi kyʼomulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi nʼaddayo nʼasisinkana Erisa, nʼamutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”

32Awo Erisa nʼatuuka ku nnyumba, nʼagenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gwʼomwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye.

33Nʼayingira ekisenge, ne yeggalirayo, nʼatandika okusaba Mukama.

34Nʼalinnya waggulu ku kitanda nʼagalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, nʼemikono ku mikono ebyʼomulambo. Mu kiseera ekyo ngʼakyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira.

35Erisa nʼayimuka, nʼatambulatambula mu kisenge, nʼoluvannyuma nʼaddamu nʼagalamira ku mulambo. Omulenzi nʼayasimula emirundi musanvu, omulenzi nʼazibula amaaso ge.

36Awo Erisa nʼayita Gekazi nʼamugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” Nʼamuyita. Omusunammu bwe yajja nʼamugamba nti, “Situla omwana wo.”

37Omukazi nʼayingira, nʼavuunama ku bigere bya Erisa, nʼasitula omwana we nʼafuluma.

38Oluvannyuma, Erisa ngʼazeeyo e Girugaali, ate nga mu kiseera kye kimu enjala egudde mu nsi, ekibiina kya bannabbi ne bakuŋŋaanira ewuwe. Nʼagamba omuweereza we nti, “Abaana ba bannabbi bafumbireyo enva mu ntamu ennene.”

39Omu ku bo nʼalaga mu nnimiro nʼanoga amaboga, nʼalaba nʼomuzabbibu ogwʼomu nsiko[8], nʼanoga ku bibala byagwo ebiwera, nʼassa mu lugoye lwe. Nʼaddayo nʼabisalirasalira mu ntamu eyʼenva. Teyamanya nga bye yanoga birimu akabi.

40Buli muntu ne bamusenera ku nva; naye bwe baaziryako, ne bayogerera waggulu nti, “Omusajja wa Katonda mu ntamu mulimu okufa.” Ne batazirya.

41Erisa nʼagamba nti, “Mundeetereyo obuwunga.” Ne babumuleetera nʼabuteeka mu ntamu yʼenva, nʼabagamba nti, “Mugabule abantu balye.” Ne wataba kabi mu ntamu yʼenva.

42Waaliwo omusajja eyava e Baalusalisa, nʼaleetera omusajja wa Katonda emigaati egya sayiri kumi nʼebiri nga mmere eyʼokubibala ebibereberye, ate era nʼamuleetera nʼebirimba ebyʼeŋŋaano embisi. Erisa nʼagamba omuweereza we nti, “Bigabire abantu babirye.”

43Omuweereza we nʼamuddamu nti, “Bino mbigabula ntya abantu ekikumi?”

44Naye Erisa nʼamuddamu nti, “Bigabire abantu babirye, kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama nti, ‘Banaalya ne bibalemeranawo.’ ” Nʼabibagabula, ne balya, ne bibalemeranawo, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali.

>