2 Bassekabaka 5:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi wʼeggye lya kabaka wʼe Busuuli[9], nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ngʼayagalibwa nnyo, kubanga Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge.

2Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, nʼaweerezanga mukazi wa Naamani.

3Omuwala nʼagamba mugole we nti, “Singa mukama wange Naamani agenda nʼalaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge bye.”

4Awo Naamani nʼagenda nʼategeeza mukama we ebigambo byʼomuwala eyava mu Isirayiri.

5Kabaka wa Busuuli nʼamuddamu nti, “Genda kaakano, era ogende nʼebbaluwa gye nnaawandiikira kabaka wa Isirayiri[10].” Awo Naamani nʼasitula, nʼatwala kilo bisatu mu ana eza ffeeza, ne kilo nsanvu eza zaabu, nʼebika byʼengoye ebyʼenjawulo kkumi.

6Era nʼatwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ngʼegamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno nʼomuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.”

7Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, nʼayuza ebyambalo bye, nʼayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bwʼansosonkerezaako oluyombo?”

8Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, nʼamutumira ngʼagamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.”

9Awo Naamani nʼasitula nʼembalaasi ze nʼamagaali ge nʼayimirira ku luggi lwʼennyumba ya Erisa.

10Erisa nʼatuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.”

11Naye Naamani nʼanyiiga, nʼagenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo nʼajja, nʼayimirira nʼakoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, nʼawuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, nʼamponya.

12Abana ne Faafa, emigga gyʼe Damasiko tegisinga amazzi gonna agʼomu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” Nʼakyuka nʼagenda ngʼajjudde obusungu bungi.

13Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bwʼakugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ”

14Nʼaserengeta nʼagenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ngʼomusajja wa Katonda bwe yamulagira, nʼaba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ngʼogwʼomwana omuto.

15Awo Naamani nʼekibinja kye ne baddayo eri omusajja wa Katonda. Nʼagenda nʼayimirira mu maaso ge, nʼayogera nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga teri Katonda mu nsi endala zonna wabula mu Isirayiri. Noolwekyo kkiriza ekirabo okuva eri omuddu wo.”

16Nnabbi nʼamuddamu nti, “Mazima ddala, nga Mukama gwe mpeereza bwʼali omulamu, siitwale kintu na kimu.” Naamani nʼagezaako okumuwaliriza, naye ye nʼagaana.

17Naamani nʼamugamba nti, “Bwe kitaabe bwe kityo, nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eriyinza okusitulibwa ennyumbu bbiri, kubanga omuddu wo taliddayo nate okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka eri katonda omulala yenna wabula eri Mukama.

18Era ne mu nsonga eno Mukama asaasire omuddu wo; mukama wange bwʼanayingira mu ssabo lya Limoni okusinza, ne yeesigama omukono gwange, ne nvuunamira eyo mu ssabo lya Limoni, Mukama asonyiwe omuddu we olwʼensonga eyo.”

19Erisa nʼamuddamu nti, “Genda mirembe.”

19Naye Naamani bwe yali yakagendako ebbanga ttono,

20Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, nʼalowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bwʼasaasidde Naamani ono Omusuuli, nʼatakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga Mukama bwʼali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.”

21Amangwago, Gekazi nʼagoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ngʼajja adduka, nʼava mu gaali lye okumusisinkana, nʼamubuuza nti, “Byonna biri bulungi?”

22Nʼamuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gyʼali okuva mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza nʼebika byʼengoye bya mirundi ebiri.’ ”

23Naamani nʼamugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” Nʼawaliriza Gekazi, nʼamusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, nʼebika byʼengoye bya mirundi ebiri, Naamani nʼabitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi.

24Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, nʼabibaggyako, nʼabiteeka mu nnyumba ye, nʼabasindika bagende.

25Nʼayingira nʼayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa nʼamubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi nʼaddamu nti, “Omuddu wo taliiko gyʼagenze.”

26Naye Erisa nʼamugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kyʼekiseera ekyʼokutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ezʼemizeyituuni, oba ezʼemizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala?

27Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi nʼava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ngʼomuzira.

>