1Awo ekibiina kya bannabbi ne bagamba Erisa nti, “Laba, ekifo we tukuŋŋaanira wafunda nnyo.
2Leka tulage ku lubalama lwa Yoludaani, buli omu ku ffe atemeyo omuti gumu, twezimbire ekifo ekigazi mwe tuyinza okubeera.” Nʼabagamba nti, “Mugende.”
3Awo omu ku bo nʼamubuuza nti, “Toogende nʼabaddu bo?”
4Nʼagenda nabo.
5Naye omu ku bo bwe yali ngʼatema omuti, omutwe gwʼembazzi ye ne gusowokamu ne gugwa mu mazzi, nʼayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange, nagyeyazise bweyazisi!”
6Awo omusajja wa Katonda nʼamubuuza nti, “Yagudde wa?” Bwe yamulaga ekifo, Erisa nʼatema akati, nʼakakanyuga mu kifo ekyo, ekyuma ne kiva wansi ne kiseeyeeya kungulu ku mazzi.
7Erisa nʼamugamba nti, “Giggyeemu.” Omusajja nʼagiggyamu.
8Awo olwatuuka kabaka wa Busuuli yali atabadde Isirayiri, ne yeebuza ku baserikale be ngʼagamba nti, “Kifo ki mwe ndikuba olusiisira lwange?”
9Naye mu kiseera kye kimu omusajja wa Katonda nʼaweereza kabaka wa Isirayiri obubaka nti, “Weegendereze obutayita mu kifo gundi, kubanga Abasuuli bajja kubeerayo.”
10Awo kabaka wa Isirayiri nʼatuma bakebere mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yayogerako. Era bulijjo Erisa yamulabulanga, kabaka nʼawona si mulundi gumu so si ebiri.
11Ekyo kyanyiiza nnyo kabaka wa Busuuli, era nʼayita abaserikale be, nʼababuuza nti, “Muntegeeze, ani mu ffe ali ku ludda lwa kabaka wa Isirayiri?”
12Omu ku bo nʼamuddamu nti, “Tewali nʼomu ku ffe mukama wange kabaka, naye Erisa nnabbi ali mu Isirayiri, yʼategeeza kabaka wa Isirayiri, ebigambo byʼoyogerera mu kisenge kyo.”
13Kabaka nʼalagira nti, “Mugende mulabe wʼali, ndyoke ntume abasajja bamukwate.” Ne bakomyawo obubaka nti, “Ali mu Dosani.”
14Amangwago nʼasindika embalaasi, nʼamagaali, nʼeggye eryʼamaanyi, ne bajja mu kiro ne bazingiza ekibuga.
15Omuweereza owʼomusajja wa Katonda bwe yazuukuka ku makya nʼafuluma ebweru, laba, eggye eririna embalaasi, nʼamagaali nga lyetoolodde ekibuga. Omuweereza nʼayogerera waggulu nti, “Ayi mukama wange tunaakola tutya?”
16Nnabbi nʼaddamu nti, “Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”
17Awo Erisa nʼasaba ngʼagamba nti, “Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba.” Amangwago Mukama nʼazibula amaaso agʼomuweereza, laba ngʼensozi zijjudde embalaasi nʼamagaali agʼomuliro nga geetoolodde Erisa.
18Abalabe bwe baaserengeta okulumba Erisa, nʼasaba Mukama, nʼayogera nti, “Nkwegayiridde, ozibe amaaso gʼabantu bano.” Nʼaziba amaaso gaabwe nga Erisa bwe yamusaba.
19Erisa nʼabagamba nti, “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga. Mungoberere, mbatwale eri omusajja gwe munoonya.” Nʼabakulemberamu nʼabatwala e Samaliya.
20Olwayingira mu kibuga, nʼasaba Mukama nti, “Zibula amaaso gʼabasajja bano, balabe.” Mukama nʼazibula amaaso gaabwe, ne batunula, laba nga bali mu Samaliya wakati.
21Awo kabaka wa Isirayiri bwe yabalaba, nʼabuuza Erisa nti, “Kitange, mbatte? Mbatte?”
22Nʼamuddamu nti, “Tobatta. Oyinza okutta abo bʼowambye nʼekitala kyo, nʼomutego gwʼakasaale? Bategekere emmere nʼamazzi, balye nʼokunywa banywe, nʼoluvannyuma obasindike baddeyo eri mukama waabwe.”
23Nʼabateekerateekera embaga nnene, era bwe baamala okulya nʼokunywa, nʼabasindika ne baddayo eri mukama waabwe. Abasuuli okwo kwe baakoma okulumba ensi ya Isirayiri.
24Bwe waayitawoko ebbanga, Benikadadi kabaka wʼe Busuuli, nʼakuŋŋaanya eggye lye lyonna, nʼalumba nʼazingiza Samaliya.
25Ne waba enjala nnyingi nnyo mu kibuga olwʼokuzingiza okwo, omutwe gwʼendogoyi
26Awo kabaka wa Isirayiri yali ayita okumpi ne bbugwe, omukazi omu nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Nnyamba mukama wange kabaka!”
27Kabaka nʼamuddamu nti, “Mukama bwʼataakuyambe, nze nnaakuyamba ntya? Obuyambi nnaabuggya mu gguuliro oba mu ssogolero?”
28Era kwe kumubuuza nti, “Mutawaana ki?”
29Ne nzikiriza, ne tufumba owange ne tumulya. Enkeera ne mugamba nti, ‘Waayo omwana wo owoobulenzi tumulye,’ naye amukwese.”
30Kabaka bwe yawulira ebigambo byʼomukazi oyo, nʼayuza ebyambalo bye. Bwe yali ngʼatambula ku bbugwe, abantu ne bamulengera, laba ngʼayambadde ebibukutu wansi wʼebyambalo bye.
31Nʼayogera nti, “Katonda ankole bwʼatyo nʼokusingawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabeera ku bibegabega bye leero!”
32Mu kiseera kye kimu ekyo, Erisa yali atudde mu nnyumba ye nga nʼabakadde batudde wamu naye, kabaka nʼatuma omubaka okumukulemberamu, naye omubaka oyo bwe yali tannatuuka, Erisa nʼagamba abakadde nti, “Mulaba omutemu oyo bwʼatumye omuntu okuntemako omutwe? Laba, omubaka ajja, muggaleewo oluggi mulunyweze so temumukkiriza kuyingira. Ebigere bya mukama we tebiri mabega we, tamuvaako mabega?”
33Awo Erisa bwe yali ngʼakyayogera nabo, omubaka nʼatuuka, nʼayogera nti, “Akabi kano kavudde eri Mukama. Lwaki nnindirira Mukama nate?”