2 Bassekabaka 8:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Mu biro ebyo Erisa nʼagamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende nʼabʼomu nnyumba yo bonna mu nsi gyʼoliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.”

2Omukazi nʼasitukiramu nʼakola ngʼomusajja wa Katonda bwe yayogera, nʼalaga ye nʼabʼomu nnyumba ye mu nsi yʼAbafirisuuti[13] okumala emyaka musanvu.

3Oluvannyuma lwʼemyaka omusanvu, nʼakomawo okuva mu nsi yʼAbafirisuuti, nʼalaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye nʼennyumba ye.

4Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza wʼomusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa byʼakoze.”

5Awo Gekazi bwe yali ngʼakyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza nʼatuuka, okwegayirira kabaka ngʼasaba ekibanja kye nʼennyumba ye. Gekazi nʼayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza yʼoyo.”

6Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, nʼamutegeeza nti bwe kyali. Nʼalyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; nʼamugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, nʼobusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”

7Erisa nʼagenda e Ddamasiko nʼasanga Benikadadi kabaka wʼe Busuuli ngʼalwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,”

8nʼagamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ngʼoyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”

9Kazayeeri nʼagenda okusisinkana Erisa, nʼamutwalira nʼebirabo ebyʼengeri zonna okuva e Ddamasiko[14], ku ŋŋamira amakumi ana. Nʼagenda nʼayimirira mu maaso ge, nʼamugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka wʼe Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ”

10Erisa nʼamuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.”

11Nʼamutunuulira nʼamaaso agʼenkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda nʼatandika okukaaba.

12Kazayeeri nʼabuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa nʼamuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bwʼolikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, nʼotta abavubuka baabwe nʼekitala, nʼosesebbulira abaana abato ku ttaka, era nʼobaaga nʼabakyala abali embuto.”

13Awo Kazayeeri nʼaddamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ngʼekyo?” Erisa nʼamuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka wʼe Busuuli.”

14Awo nʼava mu maaso ga Erisa, nʼaddayo eri mukama we. Benikadadi nʼamubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri nʼamuddamu nti, “Yaŋŋambye nti ekyʼamazima ojja kuwona.”

15Naye olunaku olwaddirira, enkeera, nʼaddira ekiwero ekinene, nʼakinnyika mu mazzi, nʼakibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. Nʼoluvannyuma Kazayeeri nʼalya obwakabaka mu kifo kye.

16Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga Yuda.

17Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era nʼafugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.

18Yekolaamu nʼatambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ngʼabʼennyumba ya Akabu bwe baakola, nʼokuwasa nʼawasa omu ku bawala ba Akabu. Nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama.

19Naye Mukama nʼatazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ngʼeyaka nʼokutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.

20Mu mirembe gya Yekolaamu, Edomu ne bajeemera obufuzi bwa Yuda, ne bassaawo kabaka owaabwe.

21Awo Yekolaamu nʼasomoka nʼagenda e Zayiri nʼamagaali ge, nʼagolokoka mu kiro nʼabaduumizi be ne batta Abayedomu abaali bamuzingizza, olwo eggye lye ne lidduka okuddayo ewaabwe.

22Okuva mu kiseera ekyo Edomu nʼajeemera obufuzi bwa Yuda nʼokutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu abʼe Libuna nabo ne bajeema.

23Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekolaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?

24Yekolaamu nʼafa nʼaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we nʼamusikira.

25Mu mwaka ogwʼekkumi nʼebiri nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda, nʼatandika okufuga Yuda.

26Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, nʼafugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya[15], muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri.

27Nʼatambulira mu makubo ga bʼennyumba ya Akabu nʼakola ebibi mu maaso ga Mukama, ngʼabʼomu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.

28Akaziya nʼagenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, nʼafunirayo ebiwundu.

29Awo kabaka Yolaamu nʼaddayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ngʼali e Lama, bwe yali ngʼalwanagana ne Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda nʼaserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.

>