1Nnabbi Erisa nʼayita omu ku bannabbi abato nʼamugamba nti, “Weesibe ekimyu, otwale eccupa eno eyʼamafuta, ogende nayo e Lamosugireyaadi.
2Bwʼotuuka eyo, onoonye Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi, omuggye mu banne, omutwale mu kisenge ekyʼomunda.
3Oddire eccupa eyʼamafuta, ogafuke ku mutwe gwe, oyogere nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti Nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ Oluvannyuma oggulewo oluggi odduke, so tolwawo nʼakatono.”
4Awo omuvubuka nnabbi nʼagenda e Lamosugireyaadi.
5Bwe yatuuka, nʼasanga ngʼabaserikale abakulu abʼomu ggye bakuŋŋaanye nʼayogera nti, “Nnina obubaka bwo, ssebo omuduumizi.” Yeeku nʼamubuuza nti, “Bwʼani ku ffe ffenna?” Nʼamuddamu nti, “Bubwo, ggwe omuduumizi.”
6Yeeku nʼasituka nʼayingira mu nnyumba, nnabbi nʼamufukako amafuta, nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Nkufukako amafuta okuba kabaka wʼabantu ba Mukama, Abayisirayiri.
7Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olwʼomusaayi gwʼabaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa.
8Ennyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri.
9Ndifuula ennyumba ya Akabu okuba ngʼennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era nʼokufaanana ngʼennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya.
10Nʼembwa ziririira Yezeberi mu kibanja ekyʼe Yezuleeri era tewaliba muntu nʼomu amuziika.’ ” Oluvannyuma olwʼokwogera ebyo nʼaggulawo oluggi nʼadduka.
11Yeeku bwe yafuluma okugenda eri bakungu banne, omu ku bo nʼamubuuza nti, “Kiri bulungi? Omulalu oyo abadde akunoonyeza ki?”
12Ne bamugamba nti, “Ekyo si kituufu! Tutegeeze amazima.” Yeeku nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼaŋŋambye nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama nti nkufukako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri.’ ”
13Ne banguwa okuggyako eminagiro gyabwe, ne bagyaliira wansi ku madaala, ne bafuuwa ekkondeere, nga bwe baleekaana nti, “Yeeku ye kabaka.”
14Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati, muzzukulu wa Nimusi nʼasalira Yolaamu olukwe. Yolaamu wamu ne Isirayiri yenna baali bakuuma e Lamosugireyaadi, Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli aleme okubalumba.
15Naye Yolaamu yali azeeyo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu Abasuuli bye baali bamutaddeko, mu kulwanagana ne Kazayeeri kabaka wʼe Busuuli. Yeeku nʼayogera nti, “Bwe muba nga bwe mutyo bwe muwulira, kale waleme okubaawo omuntu yenna atoloka okuva mu kibuga anaabunyisa amawulire mu Yezuleeri.”
16Nʼalinnya mu ggaali lye, nʼagenda e Yezuleeri, kubanga Yolaamu yali awummulidde eyo, nga ne Akaziya aserengese okugenda okumulabako.
17Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, nʼakoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”
18Awo eyeebagala embalaasi nʼagenda okusisinkana Yeeku, nʼamugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ”
19Awo kabaka nʼatuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, nʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku nʼamuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”
20Omukuumi nʼaddamu nʼayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. Nʼenneebagala yʼembalaasi efaanana ngʼenneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”
21Yolaamu nʼayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ngʼali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri.
22Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, nʼamubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku nʼamuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi nʼobulogo bwa nnyoko Yezeberi?”
23Amangwago Yolaamu nʼakyusa nʼadduka, ngʼakoowoola Akaziya ngʼagamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”
24Awo Yeeku nʼaggyayo omutego gwe nʼobusaale bwe, nʼamaanyi ge gonna nʼanaanuula omutego nʼalasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, nʼagwa mu ggaali lye.
25Yeeku nʼagamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama nʼayogera nti ekintu kino kirimutuukako.
26
27Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, nʼaddukira mu kkubo eryʼomu nnyumba eyʼennimiro. Yeeku nʼamugoba, nga bwʼayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ngʼaddukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ngʼali mu ggaali lye, naye nʼasobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira.
28Abaddu be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi.
29Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼogumu ogwʼobufuzi bwa Yolaamu mutabani wa Akabu, Akaziya nʼatandika okufuga Yuda.
30Yeeku nʼagenda Yezeberi gye yali, Yezeberi nʼakimanya, nʼasiiga amaaso ge, nʼalongoosa enviiri ze, nʼatunula ebweru ngʼasinziira mu ddirisa.
31Awo Yeeku bwe yali ngʼayingirira mu wankaaki, Yezeberi nʼamubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”
32Yeeku nʼayimusa amaaso ge waggulu, nʼakoowoola ngʼabuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa.
33Nʼayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, nʼomusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, nʼokumulinyirira ne zimulinnyirira.
34Awo Yeeku nʼayingira, nʼalya era nʼanywa. Nʼayogera nti, “Mulabirire omulambo gwʼomukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.”
35Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, nʼebigere bye, nʼebibatu byʼemikono gye.
36
37Era omulambo gwa Yezeberi guliba ngʼobusa ku ttale mu kibangirizi kyʼe Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”