1
2Awo Sulemaani nʼayita Isirayiri yonna, nʼatumya abaduumizi bʼenkumi nʼabʼebikumi, nʼabalamuzi, nʼabakadde bonna mu Isirayiri yonna, nʼabakulembeze bʼennyumba za bajjajjaabwe.
3
4
5
6Sulemaani nʼayambuka eri ekyoto ekyʼekikomo nʼalaga mu maaso ga Mukama mu Weema eyʼOkusisinkanirangamu nʼaweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7Ekiro ekyo Katonda nʼalabikira Sulemaani nʼamugamba nti, “Saba kyonna kyʼoyagala nkuwe.”
8
9Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka owʼeggwanga eryenkana ngʼenfuufu ku nsi mu bungi bwayo.
10
11Katonda nʼaddamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, nʼotosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate nʼotosaba na buwangaazi, naye nʼosaba amagezi nʼokumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe,
12
13Awo Sulemaani nʼava mu maaso gʼEweema eyʼOkukuŋŋaanirangamu e Gibyoni nʼaddayo e Yerusaalemi. Nʼafuga Isirayiri.
14Sulemaani nʼakuŋŋaanya amagaali nʼabeebagala embalaasi; nʼaba nʼamagaali lukumi mu bina, nʼabeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga ebyʼamagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
15
16Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo.
17Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna abʼAbakiiti ne bakabaka abʼe Busuuli.